Zuena ayogedde ku luyimba lwa Gravity omutujju "Nfaanana Zuena"

Ebigambo bibadde biyitingana nti omuyimbi Bebecool yemulugunya ku luyimba lwa Gravity omutujju olwa "NFAANANA ZUENA" nti era yanyiga nnyo Gravity okuyimba ku mukyalawe omulungi ennyo.

Kyaddaaki Zuena avuddeyo nayogera ku  ngeri jawulira ku ku luyimba luno nagamba nti yye talina buzibu bwonna na muyimbi ono era nti awulira bulungi bwawulira omuyimbi ng'ono nga amuyimbako kasita abeera nga tamujolonze.

Zuena ayongeddeko nti n'omwami we Bebe cool talina buzibu naluyimba luno wabula yye yabadde tannaba kuluwulirako kyokka mutabaniwe najja namugamba nti omuyimbi omu yayimbye ku linnya lye era naye namuyimbiramu kwekulumanya naye nga talina buzibu nakyo.

Kinajjukirwa nti abayimbi  abenjawulo bazzenga bayimba ku linnya lya Zuena mu nnyimba zabwe naddala abayimbi ba Good life ba Radio ne Weasel naye ng'omukyala ono tavaayo  kuwa ku ndowozaye nengeri jawuliramu.

Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari