Aba Condom Bankozesa. Ruth Kalibbala.

Munnamawulire era omuzannyi wa filimu Luth Kalibbala abotodde ekyamka nti aba Life Guard Condom baamukozesa ate oluvannyuma nebamusuula  ngamaze okubayambako okutunda Condom zabwe.

Ruth Kalibbala yeevuma olunaku lweyayingira mu ndagaano naba Life Guard  condom bakozese Face ye jebaakuba ku ngulu kwekipapula omusabikibwa Condom zino okutunda Condom zabwe.

Ruth agamba nti baamukkirizisa okuteeka omukono ku ndagaano eno nga akyali muto nnyo kyakkiriza nti kwali kubuguma bubugumi naye olw'emyaka n'okumanya kweyalina ebiseera ebyo yateeka omukono gwe ku ndagaano eno nga tategedde kiwanvu ku ndagano eno.

Agamba nti ng'amaze okussa omukono ku ndagaano eno era nebamukuba n'ekifaanayi  kyebassa ku Condom zabwe yatandika okufuna ssente okuva mu company eno  naye oluvannyuma balekerawo okuzimuwa.


Ekisinga okumuluma kwekulaba nga Faceye ku Condom zino abantu zebeyambisa nebasuula  kyokka nga yye tasasulwa ate nga talina kyakukikolera.

Ruth ngali n'omwamiwe wamu ne munnamateeka wabwe  w'osomera bino nga bali mu kugattagatta empapula balabe nga bakuba aba kampunieno mu mbuga z'amateeka.

Agamba nti kyayagala be ba Life Guard Condom okukirambika obulungi bakirage  nti yali  muto nnyo mu kiseera weyateera omukono ku ndagano yabwe eno  nti singa tebako0la kino ekiseera ekituufu bwekinaatuuka wakukuba company eno mu KKOOTI.

Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari