Minister muyingo alabudde abazadde ku mize ejiri mu masomero
.
Minister omubeezi ow'ebyenjigiriza ebisookerwako John Krizesto Muyingo alabudde abazadde abaweereza abaana baabwe ku masomero nga tebababuuliridde nti bandikifuuwa nga bakizza mu ngpombe.
Muyingo asabye abazadde okukozesa akaseera akatono akasigaddeyo mu luwummula luno okutuuza abaana baabwe bababuulirire era babagazise okusoma nga tebatangatanga n'okubakira ebuitaabatwala.
Ayongeddeko nti ensangi zino emize mingi ejetobese mu baana ku masomero omuli ebisiyaga , okunuusa ebiragalalagala, okunywa omwenge n'emirala nga abaana bano babikoppa okuva ku bannaabwe nabo nebabijola ate nga bitwala obulamu bwabwe n'okubattira ebiseera byabwe eby'omumaaso.
kyo ekitongole ekyebyenjigiriza kikkirizza abaklulira amasomero agagavumenti okutoola kunsimbi gavumenti zegawa okugula ebyetaagisa mu masomero gano.
kinajjukirwa nti omwakaoguwedde bweyali atalaaga eggwanga nganoonya akalulu akamuzza mu ntebe omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta museveni ya suubiza nti gavumenti egenda kutandika okugula ebikozesebwa abaana abawala nga bali mu nsonga zaabwe ez'ekikyala buli mwezi ekintu ekibadde kitannaba kuteekebwa mu nkola olw'ebbula lyensimbi.
Bya Nelor.

Comments
Post a Comment