Kabaka talina ttaka mu Buganda. Betty Kamya

Mulukungana lwabamawulire lwatuziza mu kampala olwaleero, Betty kamya asabye mengo enyonyole ettaka lyegenda okugabako liizi kubanga waliwo ettaka lya kabaka nga omuntu elyamuwebwa mundagano ya 1900 nga lino alirinako obuvunanyizibwa okulikozesa kyayagala kyoka nebweriba kulitunda oba kuligaba.
Kamya agamba nti etaka lino abaganda balowooza nti liri yiika 350 kyoka telikyawera kubanga mundagano ya 1900 sekabaka Daudi Chwa yawebwa yiika 350 kyoka bweyazaawa ettaka neligabanyizibwa abalangira omwali ne sekabaka Muteesa.
kyoka Muteesa bweyazawa ettaka lyeyagabana nalyo lyagabanyizibwamu abana bengoma okwali ne Kabaka Mutebi nga kati abalowoza nti Kabaka akyalina yiika 350 balimba.
Ono anyonyodde nti ku ttaka elya mayilo 9000 akabuganda nako tekawera kubanga amasaza abiri okuli buyaga ne bugangayizi gekutula dda ku buganda nga kuttaka lino kuliko ne mayiro 8 ezamasaza, 49 eza magombolola neza banamasole okuli owekanyanya nowe makindye.
"Abaganda balina okukimanya ttaka ki kwebagenda okufuna ebyapa elyo lyempulira Mayiga akubira pokopoko Kabaka ne Mayiga tebalina ttaka " Kamya bwategezeza
Bya Nelor
Comments
Post a Comment