Omuyimbi Big Eye bamugaanye amugaanye okuddamu okulaba ku mwanawe

Omuyimbi Big Eye alaajana lwa eyali muganziwe Don Zela okumugaana okulaba ku mwanawe Briton Mayanja ku mazaalibwage.

Ibrah Mayanja ak Big eye yawandiise obubaka obulaga okunyolwa mu mutima gwe olwa eyali muganziwe Don Zella okumugaana okulaba ku mutabaniwe Briton Mayanja  era namumma n'omukisa okujaguliza mutabaniwe  amazaalibwa.

Big Eye mu ngeri y'okukolimira Donzela  awandiiseku Facebook
 nagamba nti ku nsi kuno ensozi zokka zezitasisinkana  naye abantu bbo basisinkana era nga buliba lumu aliddamu nalaba ku mutabaniwe kubanga omusaayi guba musaayi bwatyo nayagaliza mutabaniwe amazaalibwa amalungi era namutegeeza  nti amwagala nnyo , amwagaliza obuwangaazi n'obulamu obulungi ku nsi eno.

Nelor  etegeddeko nti Eyali muganzi wa Star Boss Big Eye era nga yeyali ne Promoterwe DonZela essaawa eno ali mu US n'omwana wabwe.

Bya Nelor. 

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari