Abantu 22 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa Bbomu nabalala 59 nebabuukawo n'ebisago.


Abantu 22 omuli nabaana abato beebakakasiddwa okuba nga bafudde nabalala 59 nebasigala mu bisago ebyamaanyi  mu bulumbaganyi bwa bbomu  mu Manchester Arena e Bungereza.
Obulumbaganyi buno bugenze okukolebwa ng'omuyimbi owamanyi Ariana Grande ali ku stage akooka mu kiro ekyakeesezza olunaku lwaleero.

Abakoze obulumbaganyi buno tebannaba kutegeerekeka bulungi naye nga yye Katikkiro w'eggwanga lino Thereza May wamu n'abakungu abatwala eby'okwerinda munda mu ggwanga muno bagamba nti obulumbaganyi buno bwakoleddwa bannalukalala abayigganyizibwa gavumenti wamu ne poliisi munda mu ggwanga lino.

Thereza mu kwogerako eri eggwanga ategeezezza nti bakitegeddeko nga abadde lumira mwoyo omu eyetulisirizzaako bbomu eno

Wabula nga yye omuyimbi Ariana kitegeerekese nti asimattuse okufa.



Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari