Minister Kabafunzaki aleetebwa mu kkooti ku gw'enguzi
olwaleero minister omubeezi owabakozi agambibwa okusaba enguzi okuva ku musiga nsimbi owa company ya Haya , Herbert Kabafunzaki asuubirwa mu kkooti ewozesa abakenuzi bamusomere emisango jokulya enguzi.
Kabafunzaki wakulabikako n'omuyambiwe Briana Mugabi ssaako Bruce Lubowa ku musango gw'okusaba enguzi ya bukadde kkumi nabutaano.
Ngoludda oluwaabi lulumiriza nti ng'ennaku z'omwezi 8/04/ 2017 bwe baali ku Hotel Ya Serena minister Kabafunzaki baamuwa enguzi yabukadde kkumi nabutaano asobole okutta omusango gw'okukabasanya omukoziwe ogwali guvunaanibwa musiga nsimbi ono.
Minister Kabafunzaki yakwatibwa poliisi eyamukulembera okumutwala ku kabangali yaayo ng'ennaku z'omwezi 8/04/2017 natwalibwa ku poliisi yenyonnyoleko ku misango j'okulya enguzi ejaali jimuwawabiddwa.
Bya Nelor

Comments
Post a Comment