Nkyayagala etoffaali. Katikkiro Mayiga.
![]() |
katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga |
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asekeredde abo bonna abamwogerera olwetoffaali lyakungaanya era nalangirira okuddamu okukungaanya etoffaali obudde bwonna kubanga obwakabaka bwa Buganda bulyetaaga.
Katikkiro Mayiga asambazze ebyogerwa abantu abamu nti kabaka yayimiriza okusolooza etoffaali kubanga yali alirabyemu obutali bwerufu ekintu nagamba nti okuliyimiriza kwali kukuba ttooki mu mulimu guno.
Mayiga ayongeddeko nti okusolooza etoffaali kiyambako okukumaakuma ba nnauganda era nga abantu bebaamweyitiranga okubasoloozamu etoffaali .
Mayiga agambye nti ku mulundi guli yasolooza etoffaali lya buwumbi 13 era nga aqsuubira kingi ne kumulundi guno.
Kinajjukirwa nti abantu abamu mu Buganda naddala Sheikh Nuhu muzaata batte bazze bavumirira emirimu ja katikkiro Mayiga omuli netoffaali ng'ono yatuuka n'okumuyifa akavubuka akafere ebyasasaanira ku mikutu jamawul;ire ejenjawulo ekintu Mayiga kyagamba nti yye tekisobola kumuyigula ttama nalemwa okuweereza Kabakawe.
Bya Nelor
Comments
Post a Comment