Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari

Maama wa Zari ayogedde ku bituuse ku muwalawe nga eyali mukowe afudde nagamba nti  ab'oluganda lwa Mukowe ye gwayita mutabaniwe Ivan Ssemwanga bamutiisizza n'okuziika  kubanga bandimutuusako obulabe okusimnziira ku byawulira byebakonjera muwalawe.

Okuva Ivan Ssemwanga bweyafa, ab'olugandalwe b'ogedde ebigambo bingi omuli n'okulumiriza nti Zari yeyavuddeko mutabani wabwe okufa.

 Naye maama wa Zari  Hassan Harima abeera e Munyonyo wano mu Kampala bwabadde ayyogerako n'olumu ku lupapula lwamawulire mu makage  bino byonna abiwakanyizza nalaga okwennyamira ku ngeri ab'oliuganda lwa ssemwanga jeboogereramu muwalawe Zari Hassan.

Agamba nti bano bayita muwalaawe malaaya era aggwamu olwebintu ekintu kyagamba nti  kibi nnyo kubanga beerabidde nti ebintu Ssemwanga byabadde nabyo baabikola babiri ne Zari era nti yagenda okumufumbirwa nga naye alina ebibye.

Yayongeddeko nti balina okukimanya nti Ssemwanga buli lwabaddenga ajja mu Uganda abadde teyerabira kuyitako  ewuwe em  munyonyo era abaddenga ayitayo namufumbira emmere nebalya ng'amutwala nga mutabaniwe gwazaala

Maama wa Zari era yategeezezza nti takakasa oba anakkirizibwa okuziika ku mutabaniwe kubanga abantu bangi bamutegeezezza nti  ab'oluganda lwa Ssem wanga basuubizza okumukubirayo singa anagendayo okuziika.

Bya Nelor.

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga