Enfa ya Ivan Ssemwanga etiisizza eggwanga.

Ivan Ssemwanga abadde amanyiddwa nnyo ng'omugagga omuto akulira akabinja akayitibwa "Rich Gang" abamansa ssente mu Kampala  yafudde mu kiro ekyakeesezza olunaku lw'eggulo oluvannyuma lw'okumala ennaku 13  mu kkoma  mu ddwaliro lya st Steven Biko erisangibwa mu kibuga kya Pritoria e South Africa jeyali yaweebwa  ekitanda oluvannyuma lw'okukubwa  puleesa nafuna okwekwata kw'omusaayi mu bwongo  era nalongosebwa  kyokka natasobola kusimattuka.

Ssemwanaga yamanyibwa nnyo mu Uganda olw'okmansa ssente ngali wamu neyali muganziwe ebiseera ebyo  Hassan Zari kati mukyala w'omuyimbi Diamond Platinum omutanzania, buli lwebaava nga  e South Africa  nebajja mu Uganda.

Ivan Wafiiridde nga bayawukana dda ne Zari gweyali yazaalamu abaana abasatu bokka era bafudde alina bokka wabula Zari bweyamanya ebyatuuka ku Ivan nalinnya ennyonyi okuva e Tanzaniya jeyafumbirwa nagenda e South Africa okujjanjaba Ivan .

Omukuza wa Ivan Ssemwanga Muhammed Luyinda Pinto  yategeezezza nti  obulamu bwa ssemwanga  bwatandika okukyuka  okuva  Zari bweyamulekawo  nti yeyavuddeko ebizibu byonna ebyavuddeko  okufa kwa Ivan.

Ate yye taata wa Ivan Ssaalongo Joseph Bbosa  yategeezezza nti obulwadde bwa Puleesa obwamusse bubatawaanya nnyo munju yabwe nga nebakitaawe, bassengabe, ne bagandabe bonna balina obulwadde buno.

SSemwanga ebyobugaggabye ebisinga omuli  amasomero, woteeri nebirala biri mu South Africa nga newano abadde aliko woteeri jeyatandika okuzimba e Makerere, era nga abadde n'ekiooto okuzimba essomero lyabamulekwa ku kyalo jazaalibwa e Kayunga  okusinziira ku bengandaze.

Abantu b'okukyalo jazaalibwa e Kayunga banenyezza omugenzi okumansa nga ssente mu batamiivu natateekako nkulaakulana yonna ku kyalo jazaalibwa.

Newankubadde nga ab'oluganda lwa ssemwanga bbo bagamba nti ekirowoozo kino abadde akirina era nga babadde baamuwa dda nettaka awagenda okuzimbibwa essomero lyabakateyamba nga ne Muyenga jeyazimba amaka ssentebe waayo Ali Omar yatutegeezezza nti jebuvuddeko Ssemwanga yamutuukirira namusaba awandiike abavubuka bibiri abatwale mu SA abawe emirimo naye bwebaakitunuzaamu poliisi yyo nekiraba bulala nti Yandiba aytagala kuwandiika bayeekera  Ssemwanga nakivaako era nafunira abantu abali mu bibuga bya SA.

Ssemwanga yasemba okujja mu Uganda mu bikujjuko bya christmas eby;omwaka gwa 2016 era nga yakyalirako abaana ba kateyamba abali e Nsambya nabagabira ne ssente.

BannaUganda baakumye olumbe mu bifo bisatu e South Africa okuli mu makage e Pritoria, Durban nawalala era nga mugandawe Ali Mawale yategeezezza nti omubiri gw'omugenzi gwakujja mu Uganda ku Sunday era nga gwakutuukira mu makage e Muyenga mu Kampala jebanaamugya bamutwale e Namirembe okusabira omwoyo gwe n'oluvannyuma atwal;ibwe ku bijja byabajajjaabe e Kayunga jagenda okugalamizibwa mu njuye ey'olubeerera.



Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari