Kayihura bumukeredde, aba FDC bamutwala mu kooti

Bannakibiina kya FDC belayiridde okutwala akulira police ya Uganda Gen Kale Kayihura mu kooti nga ono bamulumiriza okulemera ekitongole ekitulugunya abantu ate nga bafuuka banantagambwako.
FDC nga eyita mumwogezi wekibiina kyaabwe Ibrahim Ssemujju Nganda bagamba nti police eyitirizza okutulugunya abantu abatwalibwa makomera nga nabamu batibwa kyoka kayihura natafaayo.
Ssemujju alumiriza Gen kayihura nakulira amakomera mu gwanga Dr. Johnson Byabashaija obutanyonyola bana Uganda kubanabwe abatibwa makomera.
bagamba nti bali mukubaga kiwandiko kyebagenda okutwalira sabalamuzi okukomya okutwala abasibe e nalufeeya kubanga lino lyekomera jebasinze okutulugunyiza abasibe.
Fdc okuvayo kiridde abasibe abakwatibwa kubyekusa kukuta eyali omwogezi wa police mu gwanga  Andrew Felix Kaweesi okuletebwa mu kooti nga 5/05/2017 nga bona bajudde ebiwundu nga nabamu tebakyasobola kutambula era nebalumiriza police nti ebatulugunya nyo.
Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari