Maama Nabagereka aguddewo ttabamiruka wa bakyala


Maama wa Buganda Nnabagereka sylvia Nagginda aguddewo ttabamiruka wa buganda omulundi gwokutaano n'omulanga eri bannakazadde beggwanga okukuliza abaana baabwe mu mpisa

Maama Nabagereka asinzidde mu ttabamiruka ono ayindira mu Hotel ya Africana mu Kampala  nakuutira abazadde okuyigiriza abaana emirimu okusinziira ku myaka jabwe n'okubakuliza  mu ddiini kibasobozese okuzimba amaka agegombesa era ag'ekitiibwa.

Nnaabagereka era asabye bamaama abakuza abaana babami baabwe obutabvatulugunya wabula babalambike ku biki byebalina okukola.

Ttabamiruka ono atambulira ku mulamwa "Tuzimbe amaka ag'ekitiibwa wamu nabaana baffe"

Bya Nelor.

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari