Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Omuyimbi Diamond Platnum ategeka kujja kuno okuziika eyali omwami wa Mukaziwe Hasan Zari ounaku lw'enkya.

Diamond Platinum Muyimbi ow'erinnya era owa maanyi wano mu Africa omutanzania era nga yawasa Hassana Zari  gweyakazaalamu abaana babiri kati ,oluvannyuma lw'okwawukana mu mateeka neyali omwamiwe Nagagga Ivan Ssemwanga eyekolera ennyo erinnya mu kumansa ssente wano mu kibuga kampala mpozzi kati omugenzi era agenda okugalamizibwa ku bijja bya bajajjaabe e Kayumga mu Bugerere olunaku lw'enky.
,

Diamond Mu bigambo bye yategeezezza nti yanyoleddwa wamu ne mukyalawe Zari olw'okufiirwako taata wa baanabe abasatu  ababadde bakyetaagira ddala okubudaabudibwa n'okulabirirwa kitaabwe.

Bbo banne ba Diamond abamu batuuse olunaku lw'eggulo  nga bamaze okuva ku kivvulu Diamond platinum  kyeyayimbiddeko e Nairobi ekyatuumiddwa Koreoge Festival era nga naye asuubirw aokubeegattako enkya  ku maziika.

Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari