abawakanya obukulembeze bwa Trump bakwate
![]() |
presdent Donald Trump |
Waliwo akabinja kabakazi abeeyita ba COD PINK mu Washington abawakanya obukulembeze bwa nagagga Donald Trump abaakwatiddwa oluvannyuma lwokugezaako okutaataganya okuwulirwa kwaUS Attorney Gen.Jeff olunaku lweggulo bweyabadde agezaako okweyogerako mu maka g'obwa presdent gayite White House.
Omu ku bakazi bano abambala ebya Pink byokka Desiree Ali-Fairooz owe 61 yakwatibwa ku lw'okusatu era ku misango jejimu ejokutaataganya n'okwekalakaasa ku kibangirizi kya America nga Nagagga Donald Trump nga yeeyogerako mu Kalulu nga 10 Janualy
Senator wa bweyategeeza abantu abaali bakungaanye okuwulira manifesto ya Trump, nti abamerika bonna balina kuyisibwa kyenkanyi okusinziira ku tteeka , Fairooz,kyeyava ayimirira nalekaanira waggilu nti ebiwandiiko bya Court byafuuka bya kusekererwa ekyamuviirako okukwatibwa.
Nga n'olunaku lweggulo Abakazi bano baakoze ekintu kyekimu era poliisi nebagombamu obwala.
Bya Nelor.
Comments
Post a Comment