Tamale Mirundi awemukidde ku mpewo za TV

Tamale mirundi akoze katemba atali musasulire ku mpewo bwasituse akube munnamawulire abadde amukyazizza.
Tamale Mirundi amanyiddwa ennyo mu kuvuma nokuyisa olugaayu mu bantu okusinga bannabyabufuzi yawebwa programu kulutimbe lwa TV ya NBS buli lunaku olw'okubiri eyatumibwa "ONE ON ONE WITH TAMALE MIRUNDI" nga programe eno ekyazibwa munnamawulire Simon Muyanga Lutaya.
olwaleero babadde boogera ku nsonga ye Kyapa mu ngalo nga Muyanga abuuzizza Tamale lwaki awakanya nokugaana abantu okukkiriza enkola eno eya kyapa mu ngalo ngate ye yewandiisa dda nafuna nekyapa, Tamale wasitukidde nasindika Lutaya  nga bwa mubuuza amulage ekiraga nti Mirundi yewandisa mu nkola eno.
sabbiti ewedde waliwo olupapula olwafulumizibwa nga lulaga abamu kubantu abawakanya enkola eno okuli Tamale Mirundi ne Sheik Nuh Muzaata Batte nga bbo bewandisa munkola eno era nga nemukiko lwa buganda katikiro Peter Mayiga bano bebamu kubantu beyayise abava e Patagonia
Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari