Enkaayana z'ettaka mu disitulikiti ye Kiboga.

Abantu abasula ku byaloomuli Lwamate ddwaliro, kiga, ne kapeke ebisangibwa mu disitulikiti ye Kiboga abaayo tebakyebaka lwa nkaayana za ttaka ezikutte wansi ne waggulu wamu n'okugobaganya abantu ku ttaka.

Enkaayana z'ettaka mu bitundu bino  ziwalkiriza abaayo okusiiba n'okusula mu bibanja byabwe nga babagalidde emiggo namajambiya  olwo ennyumba zabwe nebasigalira kwebasamu baana bato bokka nga nabalala basibako kkufulu nebeekukuma .

Abantu mu kitundu kino basabye akakiiko nakassiddwawo okubuuliriza ku ttaka okugendayo byambeko abataka kubanga batya nti bandigobaganyizibwa ku ttaka lyabwe.

Amaka g'obwa pulezidenti gasabye etteeka lyettaka elya 1998 land act liddemu lyetegerezebwe kubanga yemu kunsibuko yenkaayana n'obugulumbo ku ttaka eririwo kati mu Buganda ne Bunyolo.

Bino bituukiddwako mu lukiiko lwebyettaka olwenjawulo olukubirizibwa omulamuzi Catharine Bamugemerereire, akulira ebyettaka mu maka g'obwa pulezidenti Gatude  Njuba ategeezezza  nti etteeka lino lyabagibwa okusobola okutereeza enkolagama mu masekkati ga banannyini ttaka nabasebze baawe naye nga kati welyatuuka lyongedde kukalubya nsonga zebyettaka naddala mu byuganda.

Njuba ayongeddeko nti etteeka lino liwannyo eddembe banannyini ttaka nga n'oluusi abasenze bagobaganyizibwa ku ttaka bga tebabaganyizza kuwulirizibwa.

Bya Nelor



Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari