Tumwebaze yewozezzaako ku by'okusalako layini zamasimu gabantu.


Miister avunaanyizibwa ku byempuliziganya  n'ebyuma bikalimagezi mu Uganda Frank Tumwebaze  Olwaleero ayitiddwa mu palamenti yewozeeko ku ky'okunyomoola e3kiragiro kya palamenti nasalako amasimu  gabantu .
Ono yewozezzaako  nagamba nti abaddeagoberera kiragiro kya Gavumenti era nga enkola ey'okuddamu okuwandiisa line za masimu  gabantu nga bakozesa endaga muntu tegendereddwamu kuteganya  bantu n'okubabonyabonya wabula okunyweza eby'okwerinda mu ggwanga.

Tumwebaze agamba nti ekigendererwa  si kusalako bantu byampuliziuganya wabula gavumenti  yafunamu okutya oluvannyuma lw'okukizuula nti abantu abamu balina layini nnyingi nga omuntu akozesa layini omulundi gumu najigyamu okumala ebbanga ate naddamu najikozesa nga basigala n'okwebuuza lwaki omunyu aba akozesa layini enkola eyo nga talina bikolwa bikyamu era ngta yensonga lwaki nbasoose kusalako ezo layini ezitakola nnyo.


Tumwebaze ayongeddeko nti wewaawo engeri nnyingi ezikoz4esebwa abamenyi bamateeka nayer nga essimu yemu ku ngeri esinga okukozesebwa nabwekityo okusalako layini zamasimu buli ssimu newandiisibwa, kijjakuyambako okunyweza eby'okwerinda  mu ggwanga.

Bya Nelor.

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari