Maama asse muwalawe lwa shs bitaano.

Ettemu lino lyabadde Masaka , omukazi Nabateregga Jovia ow'emyaka 45 jeyakakkanidde ku muwalawe  Nakacwa Resty ow'emyaka 1o namukuba akakumbi ku mutwe namuttirawo ng'entabwe evudde ku muwalawe ono kulemera shs bitaano byabadde alina .

Abeerabiddeko nagabwe baatutegeezezza nti Nabateregga yasabye muwalawe Nakacwa shs bitaano zeyabadde alina  bagulemu obuwunga bwa muwogo bwebaba balya  yye ngamusekerera busekerewzi olwo Nabateregga kyeyavudde akwatibwa obusungu nakwata akakumbi akaabadde awo okumpi nakamukuba ku mutwe namuttirawo mbulaga.

Nabateregga mu kiseera kino yabaddeabeera nabaana baabwe abasatu oluvannyuma lwa kitaabwe okumulekawo nagenda e Juba okunoonya ssente.
Wabula bweyalabye nga muwalawe afudde nga n'abantu bakungaanye  nadduka era nga katialiira ku nsiko.

Poliisi y'ekitundu kino yatuuse negyawo omubiri g'omugenzi n'egutwala mu ggwanika ly'eddwaliro ekkulu e Masaka n'okunoonya maama w'omwana ono bwekugenda mu maaso.


Bya Nelor.

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari