Amasasi ganyoose e Jinja nga poliisi egoba abbye akasimu k'omungalo


Poliisi ekubye amasasi mubbanga abantu nebabuna emiwabu ng'egoba omuvubuka  anyakudde  akasimu k'omukazi nadduka , bino bibadde ku kyalo Kyobulondo ekisangibwa mu ggombolola ye Busega mu distulikiti ye Jinja.

Peter Waisswa yanyakudde akasimu k'omukazi namukubira enduulunesombodde nabantu poliisi mwejidde nekuba amasasi agawerera ddaka 15 mu bbanga agabunyizza abantu emiwabu .

Kino kinyiizizza abakuuma ddembe ku kyalo omuli ssentebe w'ekitun du kino  Aron lutta avumiridde ekikolwa kya poliisi kino okukuba amasasi ag'omujjirano olwakasimu obusimu netasooka kwebuuzanga kuy bakulembeze mu kitundu .

Oluvannyuma omuvubuka akwatiddwa natwalibwa ku poliisi ye Busega eby'okubba akasimu nabyegaana.


Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari