Paliament yedizza obuyinza ku kulondoola Nalufenya.
Olunaku lw'okubiri lwa week eno akakiiko kano kateeka Palament ku nninga etuule mu nsonga ze Nalufeenya olwamaloboozi gabantu abavumirira okutulugunyizibwa mu kaduukulu kano okweyongera.
Olunaku lw'eggulo Speaker wa palament Alitwala Kadaaga yalagidde akakiiko ka palament akakola ku ddembe ly'obuntu okutandika okunoonyereza ku bikolwqa byonna ebikolebwa mu kaduukulu ka poliisi ye Nalufeenya.
omu ku bakulira ekibiina kino Patrick Tumusiime wano wasabidde akakiiko kano okukozesa obukugu nga banoonyereza ku nsonga zino basobole okwanika ebibi byonna ebiri mu kaduukulu ka poliisi eno.
Abantu abenjawulo abasibiddwa nku poliisi ye Nalufeenya okuli Mayor we Kamwenge Godffrey Byamukama, abasibe abaakwatibwa ku misango j'okuttibwa kwa eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew felikisi, omukuumiwe ne Dereeva we wamu nabantu abalala batulugunyiziddwa ebyensussoi era nga bano abasibe baalabibwako mu kkooti jebuvuddeko nga balina ebiwundu ebyamaanyi ebyakaabya nabenganda zabwe okukamala.
Mayor we Kamwenge Godffrey Byamukama essaawa eno ali mu mbeera mbi nnyo nga poliisi tekkiriza bangandaze kumulambula olw'ebisago abaserikale ba kaduukulu kapoliisi ye Nalufenya byebaamutusaako ku bukongovule bwa magulu amaviivi n'ebitundu nby'omubiri gwe ebirala.
Bya Nelor
Comments
Post a Comment