Mayor eyatulugunyizibwa poliisi e Nalufeenya emukwese ab'engandaze.
Ab'oluganda lwa Mayor w'e Kamwenge town council Geoffrey Byamukama bakyaganiddwa okulaba ku untu waabwe akuumibwa mu poliisi y'e Nalufenya e Jinja Disitulikiti
.
Mayor Geoffrey Byamukama yafuna ebiwundu n'ebisago ebyamaanyi eb yamutuusibwako abaserikale ba poliisi eno nga baagala okumufunamu amawulire gebaali baagala.
Ono baamukuba nebamugyamu obukongovule namaviivi nakomayto era natwalibwa mu ddwaliro okuweebwa obujjanjabi oluvannyuma lw'eggwanga okwemulugunya ku mbeera jalimu wabula nga kitegeerekese nti Byamukama yabadde tannaba kuwona amangu ago poliisi nemuzzaayo mu kaduukulu nga japookyeza n'ebisago ebyamutuusibwako bbo bennyini.
Olunaku lw'eggulo ab'oluganda lwa Byamukama okuli omukyalawe nabaana bagenze e Nalufenya balabe ku muntu wabwe embeera jalimu mpozzi oba oliawo bamuwe ne kubujjanjabi naye poliisi nebagaana ekintu ekyayunguzza abantu bano amaziga.
Bano era baasigadde beebuuza lwaki omuntu wabwe ayisibwa mu mbeera eno nensonga lwaki poliisi ebagaana okulaba ku muntu wabwe.
omubaka w'eKitundu kino Engn.Abigaba ategeezezza nti tebannaba kutegeera nsonga lwaki poliisi yagya Mayor mu ddwaliro nga tannaba kuwona ate nemuzza e Nalufenya mu kaduukulu.
Bya Nelor.

Comments
Post a Comment