okuwandiisa layini zamasimu kwongezeddwayo omwaka omulala mulamba.Paalamenti

Olunaku lweggulo Paalamenti ya Uganda yakakasizza ekiteeso ekyokwongerayo  okusalako amasimu olwaleero  oluvannyuma lwakakiiko akakola ku byempuliziganya okwongezayo ebbanga lya mwezi mulamba nga bannauganda bonna bamaze okuwandiisa amasimu gaabwe ne ndaga muntu era nga nsalesale abadde wa lunaku lwaleero kyokka bannauganda bangi nebasigala nga beemulugunya nti ebbanga babawa ttono nnyo.

Ekiteeso ekyokwongerayo okuwandiisa amasimu kireeteddwa akulira oludda oluwabula gavumenti mu p0alament Winfred Kiiza nekisembebwa ssabawoleleza ow'ekisiikirize Winfred Nawagaba ,omubaka wa mukono South Joseph Muyanja Ssennyonga n'omubaka wa JohnBaptist Nambite.
Ababaka basiimye ekiteeso kino kigende mu maaso okumala omwaka mulamba ate abalala nebasaba kimale myezi olwensonga z'ebyokwerinda.

Omubaka Kiiza ategeezezza nti okw'ongezaayo okuwandiisa line z'amasimu kijjakuyamba abantu bonna okusobola okwewandiisa n'okufuna Density kuvbanga abantu bangi essaawa eno tebamanyi density zabwe weziri nga nababalimbalimba nrebababbako ssente bangi.
Ababaka bano era basabye bekikwatako okukka wansi ku magombolola abantu bonna basobole okufuna density zabwe.

Kiiza ayongeddeko nti Kitwala obudde bungi okunyonnyola abantu abakadde abali eyo mu byalo abatategeera nnimi zebalina okukozesa.

Ono era atangaazizza nti waliwo abaana abaali wansi w'emyaka kkumi namunaana mu kiseera okwewandiisa okufuna density wekwaliwo  nga kati boolekedde akaseera akazibu okuwandiisa line zamasimu gabwe nga tebannafuna Density.

Awo ababaka okuva ku njuyi zombi bakkiriziganyizza nakyo era nebakuutira abantu okukozesa omukisa guno okulaba nga buli omu awandiisa limne y'essimuye n'okufuna Density mu budde.

Bino webijidde ng'omwogezi w'ekitongole ky'ebyempuliziganya ekya UCC Pamela Ankunda yakamala okuteggeeza eggwanga nti abantu abaakawandiisa line zabwe bali obuikadde kkumi namunaana bokka era nakubiriza abantu okugenda mu maaso n'enteekateeka eno oluvannyuma lw'okusaba ebitongole bya Masimu okulekako ennamba ya 197 eyitibwamu okuwandiisa line nga beeyambisa density.

Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari