Okugya ekkomo ku myaka ja pulezidenti kyerariikirizza abawa Uganda obuyambi.
Akulira oludda oluwabula gavument mu palamenti Winnie Kiiza alaajanidde bannamateeka okuva mu ggwanga elya Austria okuwagira ba nnabyabufuzi nebibiina eby'obwa nakyewa mu ggwanga ebivuddeyo okulemesa enteekateeka z'ekibiina ekiri mu Buyinza ekya NRM ez'okuddamu okutigatiga ssemateeka w'eggwanga.
Bweyabadde ayogera n'ekibinja ekivudde mu ggwanga ly aAustralia ekirondoola obuyambi gavumenti yabwe bwewa Uganda ne yafiisi y'oludda oluvuganya mu palamnenti omubaka Winnie Kiiza akoowodde abagabirizi b'obuyambi kwossa abalwanirizi ba democrasiya mu nsi yonna okugatta amaanyi okulemesa bannakigwanyizi bakuno okujolonga ssemateeka nga bakyusa akawaayiro namba 102 akassa ekkomo ku myaka omukulembeze weggwanga jalina okukoma okukulembera eggwanga lino.
Bya Nelor.

Comments
Post a Comment