Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari

Maama wa Zari ayogedde ku bituuse ku muwalawe nga eyali mukowe afudde nagamba nti ab'oluganda lwa Mukowe ye gwayita mutabaniwe Ivan Ssemwanga bamutiisizza n'okuziika kubanga bandimutuusako obulabe okusimnziira ku byawulira byebakonjera muwalawe. Okuva Ivan Ssemwanga bweyafa, ab'olugandalwe b'ogedde ebigambo bingi omuli n'okulumiriza nti Zari yeyavuddeko mutabani wabwe okufa. Naye maama wa Zari Hassan Harima abeera e Munyonyo wano mu Kampala bwabadde ayyogerako n'olumu ku lupapula lwamawulire mu makage bino byonna abiwakanyizza nalaga okwennyamira ku ngeri ab'oliuganda lwa ssemwanga jeboogereramu muwalawe Zari Hassan. Agamba nti bano bayita muwalaawe malaaya era aggwamu olwebintu ekintu kyagamba nti kibi nnyo kubanga beerabidde nti ebintu Ssemwanga byabadde nabyo baabikola babiri ne Zari era nti yagenda okumufumbirwa nga naye alina ebibye. Yayongeddeko nti balina okukimanya nti Ssemwanga buli lwabaddenga ajja mu Uganda abadde teyerabira kuyit...