Posts
Showing posts from 2017
Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari
- Get link
- X
- Other Apps

Maama wa Zari ayogedde ku bituuse ku muwalawe nga eyali mukowe afudde nagamba nti ab'oluganda lwa Mukowe ye gwayita mutabaniwe Ivan Ssemwanga bamutiisizza n'okuziika kubanga bandimutuusako obulabe okusimnziira ku byawulira byebakonjera muwalawe. Okuva Ivan Ssemwanga bweyafa, ab'olugandalwe b'ogedde ebigambo bingi omuli n'okulumiriza nti Zari yeyavuddeko mutabani wabwe okufa. Naye maama wa Zari Hassan Harima abeera e Munyonyo wano mu Kampala bwabadde ayyogerako n'olumu ku lupapula lwamawulire mu makage bino byonna abiwakanyizza nalaga okwennyamira ku ngeri ab'oliuganda lwa ssemwanga jeboogereramu muwalawe Zari Hassan. Agamba nti bano bayita muwalaawe malaaya era aggwamu olwebintu ekintu kyagamba nti kibi nnyo kubanga beerabidde nti ebintu Ssemwanga byabadde nabyo baabikola babiri ne Zari era nti yagenda okumufumbirwa nga naye alina ebibye. Yayongeddeko nti balina okukimanya nti Ssemwanga buli lwabaddenga ajja mu Uganda abadde teyerabira kuyit...
Zari ayogedde, sijja kukungubagira Ssemwanga.
- Get link
- X
- Other Apps

Zari ayogedde ku kufa kw'eyali omwamiwe Ivan Ssemwanga nategeeza nti yye tagenda kwekubagiza wabula agendanga kujaguza obulamu bwa ssemwanga bwonna. bwamaze ku nsi. Zari bwabadde ayogerako ku ssimu emukubiddwa ngali mu kathedral e Namirembe nga basabira omwoyo gw'omugenzi ategeezezza nti ebintu ebyenjawulo bye byabawukanya ne Ssemwanga yye nagenda mu maaso n'omusajja omulala ekintu Ssemwanga kyeyamanya kubanga yali amanyi bulungi ki Zari kyasobola okukola era nga naye yali amanyi bulungi Ssemwanga kyeyali tasobola kukola. Zari ayongeddeko nti Ssemwanga yakimanya era namwesiga nti asobola bulungi okulabirira abaana baabwe nti era ajjakubalabirira okutuusa mukama naye lwalimujjulula. Wabula bakira Zari ayogera ku ssimu nga abakungubazi bonna bafaayo nnyo okuwulira byayogera ku ssimu. Bya Nelor
Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga
- Get link
- X
- Other Apps

Omuyimbi Diamond Platnum ategeka kujja kuno okuziika eyali omwami wa Mukaziwe Hasan Zari ounaku lw'enkya. Diamond Platinum Muyimbi ow'erinnya era owa maanyi wano mu Africa omutanzania era nga yawasa Hassana Zari gweyakazaalamu abaana babiri kati ,oluvannyuma lw'okwawukana mu mateeka neyali omwamiwe Nagagga Ivan Ssemwanga eyekolera ennyo erinnya mu kumansa ssente wano mu kibuga kampala mpozzi kati omugenzi era agenda okugalamizibwa ku bijja bya bajajjaabe e Kayumga mu Bugerere olunaku lw'enky. , Diamond Mu bigambo bye yategeezezza nti yanyoleddwa wamu ne mukyalawe Zari olw'okufiirwako taata wa baanabe abasatu ababadde bakyetaagira ddala okubudaabudibwa n'okulabirirwa kitaabwe. Bbo banne ba Diamond abamu batuuse olunaku lw'eggulo nga bamaze okuva ku kivvulu Diamond platinum kyeyayimbiddeko e Nairobi ekyatuumiddwa Koreoge Festival era nga naye asuubirw aokubeegattako enkya ku maziika. Bya Nelor
Ab'oluganda lwa Ivan Ssemwanga batabukidde Zari.Gwe wamusse
- Get link
- X
- Other Apps

Ab'oluganda lwa Ivan Ssemwanga baatabulkidde Zari nga bamulumiriza okuvaako okufa kwa mutabani waabwe. Olunaku lw'eggulo omulambo gwa ivan Ssemwanga gwaleeteddwa mu maka g'e Muyenga agamukuluwe abangi gebabadde balowooza nti nago gabadde gage webasanze nga ab'oluganda nab'emikwano balinze omubirigwe bagukubeko eroiiso evannyuma olwo gutwalibwe e Kayunga jagenda okugalamizibwa olunaku lw'enkya. Ab'oluganda lw'omugenzi eno jebaalindidde omulambo gw;omuntu waabwe naye nebawera okugajambula Zari nga bamulabyeko ku lumbe. Waayise akaseera katono ddala Zari nalabikako mu lumbe ab'oluganda lwa Ssemwanga nebaagala okumuyisaamu empi ngfa bwebamusikaasikanya ekintu ekyatiisizza abaana be abasatu beyazaala mu Ssemwanga era nga baalabiddwako nga bakaaba n'okugezaako okubakomya newankubadde bali baabadde bakuylu. Ab'oluganda lwa ssemwanga nga bakulembeddwamu omukuzawe Herbert Luyimda bagamba nti Zari yeyavuddeko embererezi yo...
Enfa ya Ivan Ssemwanga etiisizza eggwanga.
- Get link
- X
- Other Apps

Ivan Ssemwanga abadde amanyiddwa nnyo ng'omugagga omuto akulira akabinja akayitibwa "Rich Gang" abamansa ssente mu Kampala yafudde mu kiro ekyakeesezza olunaku lw'eggulo oluvannyuma lw'okumala ennaku 13 mu kkoma mu ddwaliro lya st Steven Biko erisangibwa mu kibuga kya Pritoria e South Africa jeyali yaweebwa ekitanda oluvannyuma lw'okukubwa puleesa nafuna okwekwata kw'omusaayi mu bwongo era nalongosebwa kyokka natasobola kusimattuka. Ssemwanaga yamanyibwa nnyo mu Uganda olw'okmansa ssente ngali wamu neyali muganziwe ebiseera ebyo Hassan Zari kati mukyala w'omuyimbi Diamond Platinum omutanzania, buli lwebaava nga e South Africa nebajja mu Uganda. Ivan Wafiiridde nga bayawukana dda ne Zari gweyali yazaalamu abaana abasatu bokka era bafudde alina bokka wabula Zari bweyamanya ebyatuuka ku Ivan nalinnya ennyonyi okuva e Tanzaniya jeyafumbirwa nagenda e South Africa okujjanjaba Ivan . Omukuza wa Ivan Ssemwanga Muhammed Luyinda...
Okugya ekkomo ku myaka ja pulezidenti kyerariikirizza abawa Uganda obuyambi.
- Get link
- X
- Other Apps

Akulira oludda oluwabula gavument mu palamenti Winnie Kiiza alaajanidde bannamateeka okuva mu ggwanga elya Austria okuwagira ba nnabyabufuzi nebibiina eby'obwa nakyewa mu ggwanga ebivuddeyo okulemesa enteekateeka z'ekibiina ekiri mu Buyinza ekya NRM ez'okuddamu okutigatiga ssemateeka w'eggwanga. Bweyabadde ayogera n'ekibinja ekivudde mu ggwanga ly aAustralia ekirondoola obuyambi gavumenti yabwe bwewa Uganda ne yafiisi y'oludda oluvuganya mu palamnenti omubaka Winnie Kiiza akoowodde abagabirizi b'obuyambi kwossa abalwanirizi ba democrasiya mu nsi yonna okugatta amaanyi okulemesa bannakigwanyizi bakuno okujolonga ssemateeka nga bakyusa akawaayiro namba 102 akassa ekkomo ku myaka omukulembeze weggwanga jalina okukoma okukulembera eggwanga lino. Bya Nelor.
Enkaayana z'ettaka mu disitulikiti ye Kiboga.
- Get link
- X
- Other Apps

Abantu abasula ku byaloomuli Lwamate ddwaliro, kiga, ne kapeke ebisangibwa mu disitulikiti ye Kiboga abaayo tebakyebaka lwa nkaayana za ttaka ezikutte wansi ne waggulu wamu n'okugobaganya abantu ku ttaka. Enkaayana z'ettaka mu bitundu bino ziwalkiriza abaayo okusiiba n'okusula mu bibanja byabwe nga babagalidde emiggo namajambiya olwo ennyumba zabwe nebasigalira kwebasamu baana bato bokka nga nabalala basibako kkufulu nebeekukuma . Abantu mu kitundu kino basabye akakiiko nakassiddwawo okubuuliriza ku ttaka okugendayo byambeko abataka kubanga batya nti bandigobaganyizibwa ku ttaka lyabwe. Amaka g'obwa pulezidenti gasabye etteeka lyettaka elya 1998 land act liddemu lyetegerezebwe kubanga yemu kunsibuko yenkaayana n'obugulumbo ku ttaka eririwo kati mu Buganda ne Bunyolo. Bino bituukiddwako mu lukiiko lwebyettaka olwenjawulo olukubirizibwa omulamuzi Catharine Bamugemerereire, akulira ebyettaka mu maka g'obwa pulezidenti Gatude Njuba ategeezezza nti ette...
Mayor eyatulugunyizibwa poliisi e Nalufeenya emukwese ab'engandaze.
- Get link
- X
- Other Apps

Ab'oluganda lwa Mayor w'e Kamwenge town council Geoffrey Byamukama bakyaganiddwa okulaba ku untu waabwe akuumibwa mu poliisi y'e Nalufenya e Jinja Disitulikiti . Mayor Geoffrey Byamukama yafuna ebiwundu n'ebisago ebyamaanyi eb yamutuusibwako abaserikale ba poliisi eno nga baagala okumufunamu amawulire gebaali baagala. Ono baamukuba nebamugyamu obukongovule namaviivi nakomayto era natwalibwa mu ddwaliro okuweebwa obujjanjabi oluvannyuma lw'eggwanga okwemulugunya ku mbeera jalimu wabula nga kitegeerekese nti Byamukama yabadde tannaba kuwona amangu ago poliisi nemuzzaayo mu kaduukulu nga japookyeza n'ebisago ebyamutuusibwako bbo bennyini. Olunaku lw'eggulo ab'oluganda lwa Byamukama okuli omukyalawe nabaana bagenze e Nalufenya balabe ku muntu wabwe embeera jalimu mpozzi oba oliawo bamuwe ne kubujjanjabi naye poliisi nebagaana ekintu ekyayunguzza abantu bano amaziga. Bano era baasigadde beebuuza lwaki omuntu wabwe ayisibwa mu mbeera eno nenson...
Abantu 22 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa Bbomu nabalala 59 nebabuukawo n'ebisago.
- Get link
- X
- Other Apps

Abantu 22 omuli nabaana abato beebakakasiddwa okuba nga bafudde nabalala 59 nebasigala mu bisago ebyamaanyi mu bulumbaganyi bwa bbomu mu Manchester Arena e Bungereza. Obulumbaganyi buno bugenze okukolebwa ng'omuyimbi owamanyi Ariana Grande ali ku stage akooka mu kiro ekyakeesezza olunaku lwaleero. Abakoze obulumbaganyi buno tebannaba kutegeerekeka bulungi naye nga yye Katikkiro w'eggwanga lino Thereza May wamu n'abakungu abatwala eby'okwerinda munda mu ggwanga muno bagamba nti obulumbaganyi buno bwakoleddwa bannalukalala abayigganyizibwa gavumenti wamu ne poliisi munda mu ggwanga lino. Thereza mu kwogerako eri eggwanga ategeezezza nti bakitegeddeko nga abadde lumira mwoyo omu eyetulisirizzaako bbomu eno Wabula nga yye omuyimbi Ariana kitegeerekese nti asimattuse okufa.
Big eye Oli mulogo nnyo! Donzella.
- Get link
- X
- Other Apps

Eyali muganzi wa Big Eye Don zella asiikudde fitina bwamulangidde obunaku n'obulogo oluvannyuma lw'okumuweereza card eraga obuzaale bw'omwana Britton eraga nti omwana ono si wa Big Eye era namutegeeza nti abaana bonna balina abasatu bamumerica gwali naye kati mu America. Big eye kati wempandiikidde bino nga takyasobola kwebaka olw'omuliro gw'ebigambo byawulira okuva ewa Donzella era nga mikwano je jimuwadde amagezi akube Donzella mu kkooti bakebere endaga butonde y'omwana Britton ne Big Eye. Essaawa yonna bigeye ajjakuba amaze okukunganya empapula zatwala mu kkooti okuwaayo okusaba kwe. Naye ekisinga okwewuunyisa lwelutalo lwabano okuba nga lwetabiseemu nebigambo byeddogo nga week ewedde Donzella ku simu ya Simba yategeeza nti Big Eye wamu ne nnyina ntino balogo nnyo abaamuloga navaamu olubuto lwa Big Eye olwa balongo ate natakoma okwo nabegaana ku mikutu jamawulire ekyamunyiiza ennyo. Olutalo lwabano loukyalanda. NelorBya
Maama asse muwalawe lwa shs bitaano.
- Get link
- X
- Other Apps

Ettemu lino lyabadde Masaka , omukazi Nabateregga Jovia ow'emyaka 45 jeyakakkanidde ku muwalawe Nakacwa Resty ow'emyaka 1o namukuba akakumbi ku mutwe namuttirawo ng'entabwe evudde ku muwalawe ono kulemera shs bitaano byabadde alina . Abeerabiddeko nagabwe baatutegeezezza nti Nabateregga yasabye muwalawe Nakacwa shs bitaano zeyabadde alina bagulemu obuwunga bwa muwogo bwebaba balya yye ngamusekerera busekerewzi olwo Nabateregga kyeyavudde akwatibwa obusungu nakwata akakumbi akaabadde awo okumpi nakamukuba ku mutwe namuttirawo mbulaga. Nabateregga mu kiseera kino yabaddeabeera nabaana baabwe abasatu oluvannyuma lwa kitaabwe okumulekawo nagenda e Juba okunoonya ssente. Wabula bweyalabye nga muwalawe afudde nga n'abantu bakungaanye nadduka era nga katialiira ku nsiko. Poliisi y'ekitundu kino yatuuse negyawo omubiri g'omugenzi n'egutwala mu ggwanika ly'eddwaliro ekkulu e Masaka n'okunoonya maama w'omwana ono bwekugenda mu maaso. Bya Ne...
Tumwebaze yewozezzaako ku by'okusalako layini zamasimu gabantu.
- Get link
- X
- Other Apps

Miister avunaanyizibwa ku byempuliziganya n'ebyuma bikalimagezi mu Uganda Frank Tumwebaze Olwaleero ayitiddwa mu palamenti yewozeeko ku ky'okunyomoola e3kiragiro kya palamenti nasalako amasimu gabantu . Ono yewozezzaako nagamba nti abaddeagoberera kiragiro kya Gavumenti era nga enkola ey'okuddamu okuwandiisa line za masimu gabantu nga bakozesa endaga muntu tegendereddwamu kuteganya bantu n'okubabonyabonya wabula okunyweza eby'okwerinda mu ggwanga. Tumwebaze agamba nti ekigendererwa si kusalako bantu byampuliziuganya wabula gavumenti yafunamu okutya oluvannyuma lw'okukizuula nti abantu abamu balina layini nnyingi nga omuntu akozesa layini omulundi gumu najigyamu okumala ebbanga ate naddamu najikozesa nga basigala n'okwebuuza lwaki omunyu aba akozesa layini enkola eyo nga talina bikolwa bikyamu era ngta yensonga lwaki nbasoose kusalako ezo layini ezitakola nnyo. Tumwebaze ayongeddeko nti wewaawo engeri nnyingi ezikoz4esebwa abamen...
Amasasi ganyoose e Jinja nga poliisi egoba abbye akasimu k'omungalo
- Get link
- X
- Other Apps

Poliisi ekubye amasasi mubbanga abantu nebabuna emiwabu ng'egoba omuvubuka anyakudde akasimu k'omukazi nadduka , bino bibadde ku kyalo Kyobulondo ekisangibwa mu ggombolola ye Busega mu distulikiti ye Jinja. Peter Waisswa yanyakudde akasimu k'omukazi namukubira enduulunesombodde nabantu poliisi mwejidde nekuba amasasi agawerera ddaka 15 mu bbanga agabunyizza abantu emiwabu . Kino kinyiizizza abakuuma ddembe ku kyalo omuli ssentebe w'ekitun du kino Aron lutta avumiridde ekikolwa kya poliisi kino okukuba amasasi ag'omujjirano olwakasimu obusimu netasooka kwebuuzanga kuy bakulembeze mu kitundu . Oluvannyuma omuvubuka akwatiddwa natwalibwa ku poliisi ye Busega eby'okubba akasimu nabyegaana. Bya Nelor
Museveni alagidde essimu ezasalibwako mkuzizzeeko.
- Get link
- X
- Other Apps

omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Yalagidde okuwandiisa amasimu kw'ongezebweyo okutuusa nga ennaku z'omwezi 30 /07/2017. Museveni okuwa ekiragiro kino Yabadde mu lukiiko lwa banna NRM olwatudde myu maka g'obwa presdent e Ntebe nategeeza nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya kiteekeddwa okuzaako layini zabo ezaasaliddwako nga tezinnaba kuwandiisibwa. Museveni asabye bannauganda okutwala ensonga eno nga nkulu nnyo era buli om yewandiise ng'ennaku z'omwezi 30/07/2017 terunnatuuka. Bya Nelor.
Minister muyingo alabudde abazadde ku mize ejiri mu masomero
- Get link
- X
- Other Apps

. Minister omubeezi ow'ebyenjigiriza ebisookerwako John Krizesto Muyingo alabudde abazadde abaweereza abaana baabwe ku masomero nga tebababuuliridde nti bandikifuuwa nga bakizza mu ngpombe. Muyingo asabye abazadde okukozesa akaseera akatono akasigaddeyo mu luwummula luno okutuuza abaana baabwe bababuulirire era babagazise okusoma nga tebatangatanga n'okubakira ebuitaabatwala. Ayongeddeko nti ensangi zino emize mingi ejetobese mu baana ku masomero omuli ebisiyaga , okunuusa ebiragalalagala, okunywa omwenge n'emirala nga abaana bano babikoppa okuva ku bannaabwe nabo nebabijola ate nga bitwala obulamu bwabwe n'okubattira ebiseera byabwe eby'omumaaso. kyo ekitongole ekyebyenjigiriza kikkirizza abaklulira amasomero agagavumenti okutoola kunsimbi gavumenti zegawa okugula ebyetaagisa mu masomero gano. kinajjukirwa nti omwakaoguwedde bweyali atalaaga eggwanga nganoonya akalulu akamuzza mu ntebe omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta museveni ya suubiza nti gavume...
Big eye si ggwe taata w'omwana wange. Don Zella
- Get link
- X
- Other Apps

Omumanyifu era omuvujjirizi w'ensimbi mu bivvulu Sheila Don Zella ayatiulidde eyaliko muganziwe omuyimbi Ibraim Mayanja ak Big Eye nti si ye taata w'omwanawe Britton Mayanja. Kino kiddiridde jebuvuddeko omuyimbi Big Eye okuwandiika ku mukutu gwa Facebook mun geri y'okukolimira DonZella olw'okumugaana okulaba kumwanawe Britton ku lunaku lwamazaa;libwage. Don Zella ali mu USA essaawa eno yawandiise ku mukutu gwegiumu namuddamu nti omwana gwayagala okujaguliza amazaalibwa si ye taatawe era namuweereza kaadi y'obuzaale bwa Briton nga eriko James MathewJuntune nga taata wa Britton ekintu kyeyagambye nti osanga kyekinamukakkanya nakomya okulowooza nti ono omwana wuwe. Bya Nelor
Aba Condom Bankozesa. Ruth Kalibbala.
- Get link
- X
- Other Apps

Munnamawulire era omuzannyi wa filimu Luth Kalibbala abotodde ekyamka nti aba Life Guard Condom baamukozesa ate oluvannyuma nebamusuula ngamaze okubayambako okutunda Condom zabwe. Ruth Kalibbala yeevuma olunaku lweyayingira mu ndagaano naba Life Guard condom bakozese Face ye jebaakuba ku ngulu kwekipapula omusabikibwa Condom zino okutunda Condom zabwe. Ruth agamba nti baamukkirizisa okuteeka omukono ku ndagaano eno nga akyali muto nnyo kyakkiriza nti kwali kubuguma bubugumi naye olw'emyaka n'okumanya kweyalina ebiseera ebyo yateeka omukono gwe ku ndagaano eno nga tategedde kiwanvu ku ndagano eno. Agamba nti ng'amaze okussa omukono ku ndagaano eno era nebamukuba n'ekifaanayi kyebassa ku Condom zabwe yatandika okufuna ssente okuva mu company eno naye oluvannyuma balekerawo okuzimuwa. Ekisinga okumuluma kwekulaba nga Faceye ku Condom zino abantu zebeyambisa nebasuula kyokka nga yye tasasulwa ate nga talina kyakukikolera. Ruth ngali n'omwamiwe wa...
Ivan Ssemwanga avuddeyo mu kkoma.
- Get link
- X
- Other Apps

Ivan Ssemwanga yalongooseddwa era ekiseera kyonna asuubirwa okuddamu okweyagalira mu bulamu bwensi eno. Ivan ssemwanga ono nga ye mu nnaUganda bamanyiddwa nnyo mu kumansa ssente wano yadde nga emirimu je bejimuwa ssente ajiddukanyiza mu South Africa jabeera ku ntandikwa nya week eno yaweebwa ekitanda mu ddwaliro lya Steve Biko erisangibwa mu kibuga Pritoria E South Africa . Ivan yafuna okusannyalala era natwalibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka era abadde mu Kkoma ekya leetera ne maama wa baana be abasatu Zaroi okudduka ku mwamiwe Diamond Platinum e Tanzaniya nalinnya ennyonyi nagenda mu South Africa okujjanjaba Ivan. Abasawo mu ddwaliro ewajjanjabibwa Ivan bagamba nti yabadde afunye okwekwata kw'omusaayi ku Bwongo naye nga basobodde okumulongoosa nava mu kkoma era ekiseera kyonna ajjakuba mulamu bulungi. Bino webijidde nga abawagizi ba Zari baakamala okumuyombesa olw'okulaga obuijoozi omwamiwe eyamuwasa Diamond Platinum aomutanzaniya namule...
okuwandiisa layini zamasimu kwongezeddwayo omwaka omulala mulamba.Paalamenti
- Get link
- X
- Other Apps

Olunaku lweggulo Paalamenti ya Uganda yakakasizza ekiteeso ekyokwongerayo okusalako amasimu olwaleero oluvannyuma lwakakiiko akakola ku byempuliziganya okwongezayo ebbanga lya mwezi mulamba nga bannauganda bonna bamaze okuwandiisa amasimu gaabwe ne ndaga muntu era nga nsalesale abadde wa lunaku lwaleero kyokka bannauganda bangi nebasigala nga beemulugunya nti ebbanga babawa ttono nnyo. Ekiteeso ekyokwongerayo okuwandiisa amasimu kireeteddwa akulira oludda oluwabula gavumenti mu p0alament Winfred Kiiza nekisembebwa ssabawoleleza ow'ekisiikirize Winfred Nawagaba ,omubaka wa mukono South Joseph Muyanja Ssennyonga n'omubaka wa JohnBaptist Nambite. Ababaka basiimye ekiteeso kino kigende mu maaso okumala omwaka mulamba ate abalala nebasaba kimale myezi olwensonga z'ebyokwerinda. Omubaka Kiiza ategeezezza nti okw'ongezaayo okuwandiisa line z'amasimu kijjakuyamba abantu bonna okusobola okwewandiisa n'okufuna Density kuvbanga abantu bangi essaawa eno tebamanyi d...
Ministry ye by'obulamu beerariikirivu olwa Ebola
- Get link
- X
- Other Apps

Ministry ye by'obulamu eri mu bwerariikirivu olw'obulwadde bwa Ebola obukyeriisa enkuuli mu bantu b'oku muliraano e DRC.Democratic Republic of Congo. omuwandiisi owenkalakkalira mu ministry eno Dr. Diana Atwine alaze okutya nagamba nti abakongo ne bannauganda bayingira amawanga gombi awatali agamba nga kino kyanguya okusasaana kw'ekirwadde kino. Wabula agamba nti bongeddemu amaanyi okulaba nga bakebera abantu abayingira okuva ku nsalo za DCR ne Uganda wamu ne kukisaawe kyennyonyi okulaba nga basobola okuziyiza ekirwadde kino ekiravbise nga kyolekedde okukuba koodi mu ggwnga lyattu. Abantu abawerako mu ggwanga lya DCR baafa ku bbalaza ya week eno era abalala bangi bakyali mu malwariro olw;obulwadde buno. Bya Nelor
Paliament yedizza obuyinza ku kulondoola Nalufenya.
- Get link
- X
- Other Apps

Ab'ekibiina ekirwanirira eddembe lyobuntu ekya "Human Rights Net Work" bvasanyukidde ekiteeso kya paliament okunnoonyereza ku bantu abagambibwa nti bazzenga batulugunyizibwa mu kaduukulu ka Poliisi eye Nalufeenya. Olunaku lw'okubiri lwa week eno akakiiko kano kateeka Palament ku nninga etuule mu nsonga ze Nalufeenya olwamaloboozi gabantu abavumirira okutulugunyizibwa mu kaduukulu kano okweyongera. Olunaku lw'eggulo Speaker wa palament Alitwala Kadaaga yalagidde akakiiko ka palament akakola ku ddembe ly'obuntu okutandika okunoonyereza ku bikolwqa byonna ebikolebwa mu kaduukulu ka poliisi ye Nalufeenya. omu ku bakulira ekibiina kino Patrick Tumusiime wano wasabidde akakiiko kano okukozesa obukugu nga banoonyereza ku nsonga zino basobole okwanika ebibi byonna ebiri mu kaduukulu ka poliisi eno. Abantu abenjawulo abasibiddwa nku poliisi ye Nalufeenya okuli Mayor we Kamwenge Godffrey Byamukama, abasibe abaakwatibwa ku misango j'okuttibwa kwa eyali ...
Minister Kabafunzaki aleetebwa mu kkooti ku gw'enguzi
- Get link
- X
- Other Apps

olwaleero minister omubeezi owabakozi agambibwa okusaba enguzi okuva ku musiga nsimbi owa company ya Haya , Herbert Kabafunzaki asuubirwa mu kkooti ewozesa abakenuzi bamusomere emisango jokulya enguzi. Kabafunzaki wakulabikako n'omuyambiwe Briana Mugabi ssaako Bruce Lubowa ku musango gw'okusaba enguzi ya bukadde kkumi nabutaano. Ngoludda oluwaabi lulumiriza nti ng'ennaku z'omwezi 8/04/ 2017 bwe baali ku Hotel Ya Serena minister Kabafunzaki baamuwa enguzi yabukadde kkumi nabutaano asobole okutta omusango gw'okukabasanya omukoziwe ogwali guvunaanibwa musiga nsimbi ono. Minister Kabafunzaki yakwatibwa poliisi eyamukulembera okumutwala ku kabangali yaayo ng'ennaku z'omwezi 8/04/2017 natwalibwa ku poliisi yenyonnyoleko ku misango j'okulya enguzi ejaali jimuwawabiddwa. Bya Nelor
Abali ku gy'okutta Kaweesi bagasimbagana n'omulamuzi Leero.
- Get link
- X
- Other Apps

Abasibe abaakwatibwa ku kuttibwa kwa eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Ferix Kaweesi olwaleero bakomezebwawo okusimbibwa mu maasol g'omulamuzi Nua Sajjabbi, okumanya wa okunoonyereza wekutuuse ku misango jaabwe. Abakwate bano bavunaanibwa emisango etaano ejibavunaanibwa okuli ogw'obutemu, Obutujju, okutta ,okkukusa emmundu n'emirala. Oludda oluwaabi lulumiriza nti abakwate bano ng'ennaku z'omwezi 17/03/2O17 baasasira amasasi agattirawo eyali omw'ogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi Dereevawe Godfrey Wambawa wamu n'omukuumiwe Keneth Eralu bwe baali bakava mu maka ga Kaweesi e Kkulambiro mu Kampala okwolekera ku mulimo. Bya Nelor.
Omuyimbi Big Eye bamugaanye amugaanye okuddamu okulaba ku mwanawe
- Get link
- X
- Other Apps

Omuyimbi Big Eye alaajana lwa eyali muganziwe Don Zela okumugaana okulaba ku mwanawe Briton Mayanja ku mazaalibwage. Ibrah Mayanja ak Big eye yawandiise obubaka obulaga okunyolwa mu mutima gwe olwa eyali muganziwe Don Zella okumugaana okulaba ku mutabaniwe Briton Mayanja era namumma n'omukisa okujaguliza mutabaniwe amazaalibwa. Big Eye mu ngeri y'okukolimira Donzela awandiiseku Facebook nagamba nti ku nsi kuno ensozi zokka zezitasisinkana naye abantu bbo basisinkana era nga buliba lumu aliddamu nalaba ku mutabaniwe kubanga omusaayi guba musaayi bwatyo nayagaliza mutabaniwe amazaalibwa amalungi era namutegeeza nti amwagala nnyo , amwagaliza obuwangaazi n'obulamu obulungi ku nsi eno. Nelor etegeddeko nti Eyali muganzi wa Star Boss Big Eye era nga yeyali ne Promoterwe DonZela essaawa eno ali mu US n'omwana wabwe. Bya Nelor.
Muzaata yekubye endobo ku by'e Mengo.
- Get link
- X
- Other Apps

Muzaata yekubye endobo bwe yagambye nti gavumenti ye Mengo esaanye eveeyo enyonnyole bannauganda ku nsonga ya Kyapa mu ngalo bakomye okuwanyisiganya ebisongovu kubanga bantu bakulu nabakulu abasaana okunyonnyolegana buli ludda nerutegeera lunnaalwo. Muzaata okwogera bino yabadde ali mu kusaala jjuma e Kibuli ku Lw'okutaano jeyalumbidde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nti yatuuyana nnyo nganyonnyola olukiiko lwa Buganda abalabe b'e Mengo okusinga okubanyonnyola ekituufu ekiri mu nkolaeya kyapa mu ngalo. Muzaata era yeegaanye okubeera omu ku balabe b'e Mengo nti era y'omu kubantu abalemesa enteeka teeka za Buganda eziba zanjuddwa Katikkiro wa Buganda nagamba nti bbo baba baagala kunyonnyolwa bunyonnyolwa nebategeera ensonga. Bya Nelor.
Zari adduse ku mutanzaniya.
- Get link
- X
- Other Apps

Zari adduse ku mutanzania Diamond Platinum nagenda e South Afria okujjanjaba eyaliko omwamiwe era taata wa baana be abasatu , Ivana Ssemwanga amaze mu kkoma ennaku ssatu mu ddwaliro lya Steve Biko erisangibwa mu kibuga kya Pritoria e South Africa jeyaweereddwa ekitanda okumala ennaku. Amawulire gano mabi nnyo era nga geerariikirizza abaagalwa nemikwano ja Ivan SSemwanga ol,wembeera jalimu kati. Obulwadde obuluma Ssemwanga tetusobola kubwogerako nnyo kati okusinziira ku mbeera jalimu naye nga tutegeddeko nti omutima gumuluma nnyo ebitagambika naye Nelor kyetegeddeko nti ali mu kkoma . Aba famile ya Ssemwanga betwogeddeko nabo basabye abantu bonna bamusabire mukama katonda amussiuuse era nga tukusuubiza okwongera okutegeeza buli kinaaba kizzeeko ku mawulire gano. Bya Nelor.
Ministry y'obulimi n'obulunzi erabudde ku bulwadde bwa Kalusu mu Westert Uganda
- Get link
- X
- Other Apps

Ministry y'obulimi n'obulunzi erabudde abalunzi ku bulwadde bwa Kalusu obuli mu bitundu by'e Isingiro,Ntuusi, Mbarala, n'ebitundu ebiriranyeewo obukwata ente bwebagama nti buno bukwata nabantu. Dr, C.S R utebalika ono nga yakulira eby'obulamu bw'ebisolo mu ministry eno ategeezezza nti abasuubuzi n'abalunzi abasuubula ente okuva ku muliraano e Tanzaniya bebaaleta ebisolo ebilina obulwadde bwa Kalusu nga kati bumaze okusaasanira ebitundu ebyo waggulu. Dr. lutebalika era alabudde nabalunzi okukomya okutunda ente endwadde kubanga obulwadde buno era bwabulabe nnyo ku bulamu bw'omuntu bwatyo nateeka ekkomo ku kusuubula ente okuva ku muliraano e Tanzania. Wabula teweelabira nti abalimi nabalunzi bangi basumbuyiddwa nnyo mu Uganda ensangi zino olw'ebizibu ebyenjawulo ebyeyoilekedde mu mulimu gwabwe nga ne mu disitulikiti ye Ntoroko abalunzi baayo babadde bakyakaaba olwekyeya ekibagoyezza ebitagambika nga baatuuka n'okutunda ente k...
Omuyimbi Renah Nalumansi bamupasudde.
- Get link
- X
- Other Apps

Renah n'ali n'omusiguze Hanson Baliluno Omuyimbi Renah Nalumansi asuddewo omusajjawe Justi Bas nasigala ngakaaba kati takyebaka asula ayiiya ngeri ki jayinza okukomyawo omwagalwawe. Renah nabadde muganziwe Justin Bas Renah Nalumansi yali omu ku bayimbi ba Dreem Girls natandika okuyimba yekka era nasalawo okuwa Justin Bas omukozi wa NBS TV omulimu gw'okukwasaganya oba okuddukanya ennyimbaze naye oluvannyuma nrebategeeragana mu mukwano nafuuka bbaawe okumala emyaka mingi newankubadde ababiri bano babadde bakyegaana okumala akaseera. Renah kati apepeya ne Hanson Bali Luno era nga balabiddwako mu bifo ebisanyukirwamu ebyenjawulo ng'omukwano gubasaza mu kabu era nga Baliluno abaddenga afuba nga bwasobola okubeera taata wa muwala wa Renah alabe nga awangulira ddala omutima gwa Renah . Bya Nelor
Zuena ayogedde ku luyimba lwa Gravity omutujju "Nfaanana Zuena"
- Get link
- X
- Other Apps

Ebigambo bibadde biyitingana nti omuyimbi Bebecool yemulugunya ku luyimba lwa Gravity omutujju olwa "NFAANANA ZUENA" nti era yanyiga nnyo Gravity okuyimba ku mukyalawe omulungi ennyo. Kyaddaaki Zuena avuddeyo nayogera ku ngeri jawulira ku ku luyimba luno nagamba nti yye talina buzibu bwonna na muyimbi ono era nti awulira bulungi bwawulira omuyimbi ng'ono nga amuyimbako kasita abeera nga tamujolonze. Zuena ayongeddeko nti n'omwami we Bebe cool talina buzibu naluyimba luno wabula yye yabadde tannaba kuluwulirako kyokka mutabaniwe najja namugamba nti omuyimbi omu yayimbye ku linnya lye era naye namuyimbiramu kwekulumanya naye nga talina buzibu nakyo. Kinajjukirwa nti abayimbi abenjawulo bazzenga bayimba ku linnya lya Zuena mu nnyimba zabwe naddala abayimbi ba Good life ba Radio ne Weasel naye ng'omukyala ono tavaayo kuwa ku ndowozaye nengeri jawuliramu. Bya Nelor
abaakola ebikolwa byokukabasanya abaana basaliddwa
- Get link
- X
- Other Apps
Abantu 29 basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi nga bavunaanwa emisango 170 omuli okukabasanya abaana abatanneetuuka, okukukusa abaana,n'okutyoboola eddembe lyabaana mu ggwanga lya UK . Abasajja abiri mu mukaaga,nabakazi babiri bebasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi nga bavunaanwa emisango omuli, okukabasanya abaana abatannaba kwetuuka,okukaka abakazi omukwano,okulagajjalira abaana baabwe, okukukusa abaana,okutulugunya abaana,n'okuwa abaana abato ebiragalalagala n'okulaga ekifaananyi ekibi eri abaana abato. abavunaanwa mulimu abaali bakyali abaana ebiseera webazziza emisango jino mu myaka ja 2004 ne 2011 nga muno omu ku baana abaali bavunaanibwa yakasukira omukulu wa poliisi emmere era ng'ono yaweza omuwendo gwabasajja ogwa 29 yye yasibwa era nga yye teyasimbiddwa mu maaso ga mulamuzi ku lw'okuna. Ebikolwa bino bizze bikolebwa mu nsi yonna era birese bangi mu maziga naddala abaabna ab'obuwala ne bannakazaddew beggwanga naye nga abantu nga ban...
Abaakola ebikolobero by'okukabasanya abakazi nabaana basaliddwa.
- Get link
- X
- Other Apps

Abantu 29 basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi nga bavunaanwa emisango 170 omuli okukabasanya abaana abatanneetuuka, okukukusa abaana,n'okutyoboola eddembe lyabaana bino bibadde mu ggwanga lya UK . Abasajja abiri mu mukaaga,nabakazi babiri bebasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi nga bavunaanwa emisango omuli, okukabasanya abaana abatannaba kwetuuka,okukaka abakazi omukwano,okulagajjalira abaana baabwe, okukukusa abaana,okutulugunya abaana,n'okuwa abaana abato ebiragalalagala n'okulaga ekifaananyi ekibi eri abaana abato. abavunaanwa mulimu abaali bakyali abaana ebiseera webazziza emisango jino mu myaka ja 2004 ne 2011 nga muno omu ku baana abaali bavunaanibwa yakasukira omukulu wa poliisi emmere era ng'ono yaweza omuwendo gwabasajja ogwa 29 yye yasibwa era nga yye teyasimbiddwa mu maaso ga mulamuzi ku lw'okuna Ebikolwa bino bizze bikolebwa mu nsi yonna era birese bangi mu maziga naddala abaabna ab'obuwala ne bannakazaddew beggwanga naye ng...
Nkyayagala etoffaali. Katikkiro Mayiga.
- Get link
- X
- Other Apps

katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asekeredde abo bonna abamwogerera olwetoffaali lyakungaanya era nalangirira okuddamu okukungaanya etoffaali obudde bwonna kubanga obwakabaka bwa Buganda bulyetaaga. Katikkiro Mayiga asambazze ebyogerwa abantu abamu nti kabaka yayimiriza okusolooza etoffaali kubanga yali alirabyemu obutali bwerufu ekintu nagamba nti okuliyimiriza kwali kukuba ttooki mu mulimu guno. Mayiga ayongeddeko nti okusolooza etoffaali kiyambako okukumaakuma ba nnauganda era nga abantu bebaamweyitiranga okubasoloozamu etoffaali . Mayiga agambye nti ku mulundi guli yasolooza etoffaali lya buwumbi 13 era nga aqsuubira kingi ne kumulundi guno. Kinajjukirwa nti abantu abamu mu Buganda naddala Sheikh Nuhu muzaata batte bazze bavumirira emirimu ja katikkiro Mayiga omuli netoffaali ng'ono yatuuka n'okumuyifa akavubuka akafere ebyasasaanira ku mikutu jamawul;ire ejenjawulo ekintu Mayiga kyagamba nt...
Abantu 30 bebakakasiddwa okufa Ebola e DRC
- Get link
- X
- Other Apps

Obulwadde bwa Ebola bwakatta abantu abasoba mu 30 ku muliraano e DRC era nga gov't ya Democratic Republic of Cong yakakakasa abantu 30 abafudde nga abantu amakumi ana 40 bakyali mu malwaliro bakyekebejjebwa oba baakwatiddwa. Abagabirizi b'obuyambi bali mu keetalo okulaba nga bayambako okutaasa abantu abatannaba kukwatibwa kirwadde kino kinnamutta wamu n'okusomesa abantu abatannaba ku kwatibwa. abagabirizi b'obuyambi nga basitudde omulambo gwafudde Ebola Gov't ya Uganda eri mu kutya nti obulwadde buno bwandikwata bannauganda era bannauganda balabuddwa okwewala ebintu ebisasaanya obulwadde buno nga okukwata abantumu ngalo,okulya ennyama etamanyiddwa bulungi jevudde n'okwekenneenya ebyobuyonjo mu maka gabwe. Ebbola lweyasembayo okujja ku lukalu lwa Africa yatta abantu abasoba mu mutwalo. Bya Nelor
Omuyimbi Exodus obulamu kati bwa ssaala zokka.
- Get link
- X
- Other Apps

Omuyimbi wa Gospel George Lubega Timothy aka Exodus jebuvuddeko yakwatibwa naggalirwa poliisi ye Arua oluvannyuma lw'okulemererwa okusasula akakadde kensimbi zaUganda eza Hotel . Exodus yakwatibwa oluvannyuma lw'okulemererwa okusasula akakadde k'ensimbi za Uganda eza Hotel ya White Castle esangibwa mu Arua abaddukanya Hotel eno bwebawaba ku poliisi ye Arua nti alemereddwa okusasula ebisale bino, poliisi nemugomamu obwala. Ensonga zino zanakuwaza nnyo omuyimbi ono Exodus era neyeegayiriura baleme kumuggalira nebateesa nateebwa. Kati ensonda zigamba Exodus akola butaweera okulaba ngasasula ssente zino mpolampola ngate bweyereportinga ku poliisi ye Arua. Exodus bweyafunanga ebizibu nga bino yayambibwangako omukuzawe Pastor Kayanja naye ekiseera kino yali yeeyawula oba nga yasajjakula bwatyo yasalawo okuddira muganziwe Judith Heard eyateranga okumutaasa buli lweyafunanga ebizibu ebitali bimu. Naye ku mulundi guno mukyala wa Exodu...