Trump atabukidde banamawulire. Mwagala kunemesa

Omukulembeze wa America Nagagga Donald Trump  atabukidde bannamawulire mu bikujjuko ebyennaku ekikumi ng'ali mu buyinza

Ebikujjuko bino bitegekeddwa mu Pennsylvania  ng'eno Trump jasinzidde nalumiriza bannamawulire okwagala okumulemesa entebe bwebaamuwandiikangako amawulire ag'obulimba ng'anoonya akalulu akaamuleeta mu buyinza.

Trump asuubizza abamerica nga bwagenda okukola ku byonna byeyabasuubiza mu kisanja kino

Ekisinze okwewunyisa abantu ye Trump okugaana okwetaba ku kijjulo ekitegekeddwa abawagizibe mu maka g'obwa presdent aga White House, era ng'ono ye mukulembeze asoose okukola ekikolwa kino okuva mu mwaka gwa 1981 eyali omukulembeze wa America Ronald Reagan bweyagaana okwetaba ku kijulo ekyefananyirizaako bweguti.

Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari