Katemba nga bayimbula Omubaka wa Kawempe south Munyagwa mubarak
![]() |
Munyagwa nga asiibulwa omuserikale w'amakomera |
Munyagwa mu kooti abadde atuyana bwezikala bwalagidwa okusasula sente ezimubanjibwa nga tazirina ekimuvirideko okusingayo ekyapa kyettaka lye elisangibwa e nakaseke nokusasula obukadde 15 obwobuliwo eri omugaga Bumaali namusuubiza nokumusasula endala mu mwezi ogw'omunana omwaka guno ekikkiriziddwa bwatyo nayimbulwa.
wabula abadde afuluma ate munamateeka we namwesimba maso nga amugana okugenda nga tamusasudde sente ze obukadde 3 zamubanja nga bano bazeyo mu kooti kyoka omulamuzi nabalagira okukkannya nga bwekigaana Munyagwa adizibwe e luzira.
mukunonya awola munyagwa nga yenna bimusobedde eyali senkagale wa FDC Dr. Kizza Besigye wajidde n'omubaka wa Makindye west Allan Ssewanyana nebasasulira munyagwa sente bwatyo nawona ekomera.
Era ababadde ku kooti eno balabye katemba omulala bakyala bamunyagwa buli omu bwabadde yesunga okudda ewaka nomwami we okumufumbira ettooke nga bano balabiddwako nga beyogerera ebisongovu mu maso ga bbabwe.
Omugaga Johnbaptist Bumaali asanyukidde ekisalidwawo kooti nga kati alina esuubi nti Munyagwa ajja kumusasula sente ze nga nokusinga ayagala batuule ku meeza okusinga okwewuuba mu kooti.
Bya Nelor
Comments
Post a Comment