Enjaga emukozeseza natta abantu babiri
![]() |
Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Kingo ekisangibwa e Kisansala mu disitulikiti ye Lwengo.
Kigambibwa nti Mugumya guno si gwemulundi ogusoose ngakola ettemu nga lino nga ne jebuvuddeko yakwatibwako poliisi ngalina omuntu gwa temudde engeri eno.
Ssentebe w'ekitundu kino Dick Muwanga asabye abazadde okuwaayo abaana baabwe abanywa enjaga mu mikono ja poliisi nategeeza nti emirundi mingi poliisi ezze ekola ebikwekweto okufuuza abavubuka nga bano abazadde nebabazibira wamu n'okubagaanira ate nga bakimanyi nti abaana baabwe bakozesa ebiragalalagala.
Abatuuze bo bennyamidde nnyo olwekikolwa kya Mugumya era nebalag okutya nti poliisi yandimuta naddamu okutemula abalala.
Ye nnyina Namanda ngali mu ddwaliro ategeezezza nti okutremulwa yabadde agezaako kumukomya ku kikolwakye naye namutemaatema.
Poliisi egyewo emilambo jabatiddwa wamu nebissi Mugumya byakozesezza naye nemutwala ku poliisi janagyibwa okutalibwa mu kkooti awerennembe n'omusango.
Bya Nelor.
Comments
Post a Comment