Poliisi ekutte omukazi owettima, Abadde atulugunya omwana wa mujja we
![]() |
Police nga etwala Namuganza |
Akwatiddwa ye Namuganza Grace abeera e Nansana ng'okumukwata kiddiridde poliisi okufuna amawulire nga bwabadde atulugunya omwana nga yatuuka n'okumulumaaluma omubiri gwonna.
Omu ku batuuze , yalabye omwana ngazimbye omumwa namukebera nga mannyo kwekumwambula okusanga, ng'omubiri gwonna gujudde amannyo amapya namakadde era namuloopa ku poliisi ezze nemukwata.
Namuganza bwabuuziddwa poliisi ku kikolwa kino ategeezezza nti alina ekitambo ekimulagira okuluma omwana ono era nafukamira wansi nasaba poliisi emusonyiwe.
Emirundi mingi abazadde babonyaabonya abaana mu maka oba babazaala oba tebabazaala ekintu ekityoboola eddembe lya baana era nga kino kibagaana n'okukula obulungi.
Bya Nelor
Comments
Post a Comment