Bujingo atabuse,"Ani yandaba nga njokya bayibuli"

Pr. Aloysios Bujingo
Omusumba wa balokole Aloisious Bujingo owa House of Prayer Ministries esangibwa e Makerere Kikoni  yegaanye ebizze bimwogerwako okuva ku lunaku lwamazuukira ntii yayokya bayibuli nga bwebizze bisaasanira mu mawulire
Bujingo agamba nti abatamwagala bebaasaasanya olugambo luno okusobola okumugya ku mulamwa ogw'okubuulira enjiri era nabasekerera kuba tebalina kyebayinza kumulemesa
Mubwelaliikirivu obwekitalo, bujingo yagambye abagoberezi be nti tafunanga ku kirozo kya kwokya bayibulli nga nebwalizaala omwana nagezaako okujokya aliba wa sitaani.
Bujingo alabise ngali mu kutya yakyukidde abakulembeze mu nzikiriza endala  abaavaayo nebamulagira okwetonda  nabagamba nti tasobola kwetonda kukintu kyataakola
Bino webijjidde nga nababaka ba palament bali mu nteeka teeka ereeta ebbago ku basumba babalokole bebagamba nti baagala okusooka okwekenneenyezebwa  nga  tebannatandika  ma kanisa okusobola okwewala ebikolwa nga bino okweyongera mu ggwanga
Pr.David Kiganda 
Nabasumba baabalokole nga bakulemberwamu bishop David Kiganda owa Christianity  Focus Centre e Mengo Kisenyi , bategese okusaba ku lw'omukaaga mu kisaawe kya Nakivubo Blue mwebagenda okuyita okwetondera ensi olwekikolwa kino kyebagamba nti bujingo yeyakikola

Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari