Ebya Dr.Bosa bibi.Gweyeegaana amuli bukiika.

Munnakatemba omututumufu okuva mu kibiina kya Ebons  Sam Bagenda eyakazibwako elya Bbosa  ali mu kattu, oluvannyuma lwokulagirwa ekitongole kya FIDA okukkiriza okukeberebwa omusaayi gw'endaga butonde n'omwana omuwala  gweyegaana okumala emyaka esatu e Mabega  nti ssi ya muzaala oba okusibwa
Ekitongole kya FIDA  okuwa Bagenda ekiragiro kino kyaddiridde omuwala Engel Joan Ntege okuva mu ggombolola ye Lubaga mu Kampala okuloopa Bagenda mu FIDA  olw'okumufunisa olubuto namusuulawo ate teyakoma okwo nga bweyazaala omwana naye bagenda yamwegaana.
Joan yagezaako okusaba Bagenda okugenda okukebera omusaayi gw'endaga butonde gi yite DNA mu mwaka gwa 2014 emyaka esatu okutuuka kati ng'omwana gweyatuuma Devine Bagenda yalina emyaka etaano,  Bagenda yagaana era nategeeza emikutu ja mawulire nti Joan ayagala kutattanya linnya lye  nti yye tamuzaalangamu mwana.
Kati wempandiikira bino nga Sam Bagenda yakkirizza okukeberebwa n'omwana Devine Bagenda endaga butonde  ku bbalaza ya week ejja nga oluvannyuma lwa FIDA okumussaako akazito era nga singa ebiva mu musaayi biba bikwatagana bulungi  ono aba mwana wa kubiri  nga Bagenda amwegaana ng'ate wuwe.
Mukiseera kino omwana ayogerwako Devine Bagenda asomera ku Ssomero lya Lungujja Preparatory school nga kati alina emyaka musanvu.
Bya Nelor.

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari