Eyanyakudde akasimu agudde mu mwala nafiiramuomw

Omwala Wabwire mweyafiiridde
Omuvubuka Wabwire Keneth yanyakudde akasimu k'omukazi nadduka okukakkana ngagudde mu mwala e Kawempe  Ttula nafiiiramu.
Poliisi yaleremereddwa okunnyulura omulambo gwe abantu nebeekolamu omulimo nebanoonya omulambo okutuusa lwebaaguzudde nebagunnyululayo.
Kyokka  bwebaagutuusizza ku lukalu kyebaasoose okukola kwe kwambula omulambo guno nga bagamba nti abbye  akasimu naye kabamubonerreze bamuleke bwereere era nebamugyamu engatto, engoye, n'omusipi  nebabyambala mu ngeri y'okukola efujjo.
Abantu b'ekitundu kino b'ekokkodde omwala guno nga bagamba ntinno gwakafiiiramu abantu bataano naye  gwalema okukolebwa era baalaze  obwennyamivu nti gwakubattira abantu abalala bangi.
Wabula abakulembeze b'ekitundu kino baakitadde ku kitongole kya KCCA  kyebagamba nti kyekivunaanyizibwa kukuzimb omwala guno naye nga kisudsdeyo gwa naggamba.
ByaNelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari