Banadiini batabukidde Pr. Bujingo.Baagala yetonde.
Bya Nelor.
Ssaabalabirizi we kanisa ya Uganda Stanley Ntagali avumiridde ekikolwa kya Pastor bujingo owe kanisa yabalokole eya House of Prayer ministries e makerere kikoni olwokukakana ku kitabo ekitukuvu Bayibuli nakyokya.
Pr Bujingo yayokya bayibuli nga agamba nti zino teziri kumulamwa gwa kanisa era wabula olw'ebyawandikibwa ebizirimu byagamba nti bibuzabuza abantu.
Ssaabalabirizi ntagali nga ayogerako eri abakiriza agamba nti okwokya ekitabo ekitukuvu ekya bayibuli kityobola ekitibwa kye kanisa.
Asabye Pr. Bujingo yetondere egwanga olwekikolwa kino kubanga bayibuli yawandikibwa munimi ezenjawulo nga kino kiyamba abantu abatali bamu okutegera bayibuli nga nolwekyo bwojokya obera obayisizamu amaso.
Nabasumba babalokole okuli Bishop David Kiganda owekanisa ya Christianity focus centre mengo-kisenyi n'omusumba John Bunjo nabo bavumiridde ekikolwa kya Bujingo nga bagamba nti kino kyakunyomola kanisa era nebasaba bana Uganda okubegatako bavumirire abasumba nga bano.
Era bano balangiridde okutegeka okusaba kwokungubaga okwokubera kukisawe kya Nakivubo Blue kulwomukaga olujja bawanjagire omutonzi okusonyiwa egwanga Uganda olwabantu abafanana Bujingo abayinza okweyongera.
Bbo abekitongole ekivunanyizibwa kukukyusa bayibuli mu gwanga ekya Bible Society Uganda batisizatisiza okukuba omusumba Bugingo mumbuga zamateka olwokuyisa olugayu mu kitabo ekitukuvu nokubusabusa omulimo gwebakola.

Comments
Post a Comment