Nadduli alumirizza abakungu ba kabaka. Muli banyazi

Minister Abdul Nadduli 
Minister owa guno naguli Alhaji Nadduli yagugumudde abakungu b'e Mengo nabagamba nti basusizza okunyaga abantu mu nsonga ze ttaka ate nebavumaganya kabaka n'okukyayisa obuganda  nga bakyangakyanga ebiwandiiko.
Nadduli okwogera bino yabadde akyaliddeko ab'e Butambala nga baggulawo omuzikiti n'okusaala mjjuma.
Nadduli era ategeezezza abasiraamu nti bano bennyini abakungu be Mengo  bazze boogera ebintu bingi wabula nebabimenya olwokugujubanira ebyenfuna nga obutassaawo bakulembeze bakiikirira baganda abakopi oba bayite abaganda abatava mu lulyo lulangira okubakiikiriora mu lukiiko lwa buganda nga bwekyalambikibwa kyagambye nti kino kiraga okuboola abaganda abakopi era nga kikyayisa kabaka.

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari