Obunkenke mu DP. Nambooze alidde matereke ne Mbidde.
![]() |
Hon Betty Nambooze |
Enjawukana mu kibiina kyebyobufuzi ekya Dp zizze zibeerawo okuviira ddala mu myaka ejemabega.
kyokka oyinza ogamba nti ate kumulembe gwa Norbert Mao kibadde kizibu nnyo okumanya ani mukulembeze mu kibiina kino olw'abakulembeze kumitendera ejenjawulo okuvangayo nebakola ebyo ebikontana namateeka g'ekibiina.
mubano mwemuli n'omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze Bakireke nga ono ye sentebe wa Dp mu Buganda okuvaayo nalaga obutali bumativu ku bakulembeze b'okuntikko baali tebagoberera mateeka agafuga ekibiina.
ono yegattibwako Lord Mayor wa Kampala Ssaalongo Elias Lukwago, omubaka Kato Lubwama( Rubaga south), Kasibante Moses(Rubaga North), eyali omubaka wa kawempe south Ssebuliba Mutumba Mudduawulira nabalala nga bano baateeka Mao ku nninga anyonnyole enkola y'emirimo mu Dp.
Waayita mbale eyali akulira Dp mu Busoga eyaliko mayor wekibuga kye Jinja Baswale Kezaala n'eyali minister e mengo Florence Nakiwala Kiyinji nga bawereddwa ebifo mu gavumenti ekya yogeza banna Dp ebikankana nga bagamba nti bano baali bafuuse abalabe bekibiina.
Oluvannyuma lwa bino, Omubaka Betty Nambooze ng'ali wamu nabamu kubakulembeze ba Dp mu Buganda baasalawo okutuuza olukungaana ku sharing e Nsambya okusobola okugaayagaaya ku ngeri yokwongera obuwagizi mu kibiina kino kyoka nga police nekiwayi kya Dp ekikkiririza mu Mao baakiwakanya era okukakkana nga police bano ebaganyi okkuba olukungaana lwe baagamba nti lumenya mateeka.
obunkenke bweyongera mu kibiina kino nga buli omu ayogera kikye era okuwanyisiganya ebigambo kubadde kuberawo mu bakulembeze abatali bamu nga kuva ku kugujubanira ekitibwa mu kibiina.
kino kyaviirako ekibiina kya Dp okuyimiriza Betty Nambooze ku kya sentebe wa Dp mu Buganda okumala akaseera.
![]() |
Hon Fred Mukasa Mbidde |
Nambooze mu kwanukula Mbidde yagambye nti mubakulembeze ba Dp abaalitutte ekibiina mu maaso ate mwemuli abasisinkana omukulembeze wegwanga mukyama mukifo kyokuzimba DP netwala obuyinza.
Nambooze era yalumirizaa Mbidde okutunda Dp mu NRM.
Bya Nelor
Comments
Post a Comment