Kayihura yeyongedde okutya olwobumenyi bwamateeka obweyongedde

Kayihura nga ali nebannamawulire
Omuduumizi wa poliisi mu gwanga Gen kale kayihura alaze okutya olwa bamu kubakulu mu police ate okwenyigira mubumenyi bwamateeka mukifo kyokukuma abantu nebyabwe.
kayihura alabudde nti singa omusirikale wa police anasangibwa nga yenyigidde mubumenyi bwamateeka bagenda kumuvunana kululwe sosi nga police.
kayihura abadde omunyivu abadde ku police ekatwe jalagidde banamawulire abamenyi bamateeka abasoba mu 30 nga bano bava mukabinja akamanyidwa nga kijambiya era nga nako katigomya kampala nemirirano.
muno mubademu omuvubuka  agamba nti bakolagana naba police nga basooka kusisinkana mu woteli emu mu kibuga kampala olwo nebabasindika mu bifo ebyenjawulo okuteega abantu okubabbako ebyabwe, okusobya kubakazzi, okunyakula obusawo nebirara.
kyoka Kayihura asabye bannamawulire obutasooka kutwala bigambo byamuvubuka ono kubanga balina okusooka kwekenneenya byayogera nokubinonyerezaako oluvannyuma balabe ekyokubakolera.
bino bituukidde mukaseera nga obumenyi bwateka bweyongedde era abantu emirundi mingi balumiriza police okubwenyigiramu
Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari