Dr. Stella Nyanzi awemudde omulamuzi,anyiize namuzzaayo e Luzira.

Dr.Stella Nyanzi 
Omulamuzi wa Kkooti enkulu Elizabeth Kabanda  agobye okusaba kwa Dr.Stella Nyanzi okweyimirirwa ku misango ejimuvunaanibwa omuli okukozesa obubi internet,n'okulebula omukulembeze Weggwanga  namulagira asooke addeyo ku kkooti ya Buganda Road  akeberebwe omutwe nga bwekyasabibwa  omuwaabi wa govt Jonathan Muwaganya.
Nyanzi ku kkoti atuusiddwa ssaawa 3:oo ez'okunkya  olwo ssaawa  nnya  zennyini ez'okunkya omulamuzi Kabanda natandika okunyonnyola kkooti  emisango ejivunaanibwa  Nyanzi  nakamutema nti kkooti tesobola kukkiriza kusabakwe nga tebannaba kufuna alipoota y'omusawo ku mutwe gw'avunaanwa
Nyanzi bino olumugudde mu matu nakytukira omulamuzi wamu nabapoliisi nayongeera okubawemula nga bwalekaanira waggulu.
Wano ba lawyer ba Nyanzi  okuli Izaac Ssemakadde  nebesansabaga yadde nga babadde tebalina kyebasobola kwongerako ku kiragiro ky'omulamuzi.
Ssemakadde  alaze obwennyamivu ku kiragiro ky'omulamuzi era nagamba nti kano kamanyiiro akasusse nga kino kyalabye yye takirabangako kubanga omuntu tasobola kusaba kweyimirirwa nagaanibwa.
Nyanzi wakukomezebwawo mu kkooti ya Buganda Road ng'ennaku z'omwezi 10/05/2017 okusobola okusalirwa omusango.

Bya Nelor.

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari