Kayihura alagidde aba Bodaboda okwewandisa.
![]() |
Aba bodaboda mu kampala |
Oluvanyuma lwobutemu obuze buberawo mukibuga kampala nemugwanga lyona nga buno butwaliddemu nabanene mubitongole byebyokwerinda okuli eyali omwogezi wa Police mugwanga Andrew Felix Kaweesi , Maj, Muhammad Kigundu nabalala nga bano batibwa abantu abaali batambulira ku bodaboda, Olwaleero omudumizi wa police mugwanga Gen. Edward Kale Kayihura asiibye atalaaga ekibuga Kampala okulaba ebyokwerinda bwebiyimiridde mu mulimo gwa boda.
Kale Kayihura atambudde ku mu bitundu bya kampala ebyenjawulo nga eno obwedda aba bodaboda bamusindira enaku jebakoleramu omuli okukubwa obutayimbwa, okubibwako piki zabwe, okutibwa nabatemu okozesa omulimu gwabwe nebatemula abantu ekivumaganya omulimo gwabwe.
Bano era balopedde Kayihura abantu ababakwata nga babagamba nti bakolera mukibina ekidukanya omulimo gwa boda mu kampala ekya 2010 kyebagamba nti tekiri mu mateeka kyokka bwebabakwata nebabatulugunya ebyensusso nga n'abamu batwaliddwa mu komera e luzira nga tebalina musango.
Era bamulopedde n'omusolo ogubabinikibwa gwebagamba nti bangi gubalemeseza okukola omulimo gwa boda nga yensonga lwaki bwogenda ku police ezenjawulo mu kampala osanga boda zebaakwata nga nakati banannyinizo zibalemye okujayo.
Gen. Kale Kayihura
Abasubiza nokwongera kubasajja be mukampala nemirirano kubanga mwemusinga abagoba ba boda abangi.
Bya Nelor
Comments
Post a Comment