Dr.Stella Nyanzi bamuzizzaayo e Luzira

Dr. Stella Nyanzi nga agasimbaganye n'omulamuzi
omulamuzi wa kooti ya Buganda Road azzeemu okusindika stella Nyanzi mu komera eLuzira,oluvannyuma lw'okuleetebwa  mu kkooti mu kaseera nga ne ba puliida be bakyekenneenya  omusango gwe.
lawyer wa Nyanzi Nicholas opiyo asabye kkooti omuntu we awebweyo akaseera akalala nekigendererwa ekyokulemesa abasawo abaakebera omutwe gwe gwebagamba nti gwakeberwa dda bweyalabikako mu maaso gabalamuzi jebuvuddeko ng'okuddamu okumukebera kiba kya kulkinnyirira ddembe lye. okusaba kwe kuno kwakuwulirwa olunaku lw'ekya.
Nyanzi yawawabilwa govt ngavunaanwa okukozesa obubi internet  ngawandiikayo ebigambo byobuwemu, n'okukozesa olulimi oluvvoola n'okulebula omukulembeze weggwanga   era nga  omuwabi wa govt amulumirizza okuwandiiika ebigambo ebivuma era nga bitegeeza mukulembeze wa ggwanga.
Wabula emisango jino jonna nnyanzi ajegaanye nategeeza nti yye awandiika okujjukiza abali mu buyinza obuvunaanyizibwa bwabwe.

omuwaabi wa govt Jonathan Muwaganya yassaayo okusabakwe mu kkooti  ngennaku z,omwezi 10/04/2017 nti kkooti elagire  Nyanzi akeberebwe omutwe kubanga mubyafaayo bya nnyanzi abadde atawanyizibwa omutwe era nga yali abaddeko omulwadde mu ddwaliro lye Butabika nga kino ekiwandiiko kyesigamizibwako nnyo SP Mboniva  Emmanuel omu ku bapoliisi abanoonyereza ku musango gwa Nyanzi.
Naye  bbo balawyer be nebadduka jambwa, ku kkooti enkulu mu Kampala okuwakanya okusaba kw'omuwaabi wa govt ookwagala okukozesa ebyava mu kukebera omutwe Nyanzi afuulibwe omusiru.
lawyerwe Opiyo  yategeezezza kkooti nti oludda oluwolereza Nyanzi  baasuubira nti  okusaba kwa kkooti enkulu kwalikulina okuwulirwa  ng'olwaleero telunnaba kutuukaera kkooti enkulu esazeewo okusaba  kuno kuwulirwe enkya.
Opiyo yagambye nti okusaba kw'omuwaabi wa govt kwaleetebwa mu mutima mubi nembeera eyokuwamba n'ekigendererwa eky'okubalemesa  era nagamba nti balina okuweebwa akadde akamala okusobola okutunula mu kusaba kw'omuwaabi wa govt.
Magistrate James Eremye yagambye nti  Nyanzi aziddwayo e Luzira ku lw'okusaba kwabantu abamuwagira .
Nyanzi jebuvuddeko abadde yakulemberamu kampain jeyatuuma "Pads for girls"nga govt ya kuno bweyali esuubizza. yye kyagama nti  govt yalemelelwa okutuukiriza ekisuubizo kyayo

Bya Nelor

Comments

Popular posts from this blog

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari