Abaagula mu ntobazi emitima jibeewanise
![]() |
Ebimu ku bitundu by'entobazi |
![]() |
Ebitundu ebirimu entobazi bwebifaanana |
Wano ekitongole ekivunaanyizibwa ku ntobazi wekyaviiriddeyo nekitandika okusimba ebikondo nga bwekiraarika nti abaagula mu ntobazi bonna baagula mpewo nga kyekiseera baziveemu.
Abakulu okuva mu kitongole kino nga bakulembeddwamu Stella Nalumansi akikulira batandikidde mu disitulikiti ye Wakiso okusimba ebikondo.
Nalumansi wano weyategeerezza bannamawulire nti abantu bonna abaagula mu bifo ebirimu entobazi abalina ebyapa, byakusazibwamu awatali nakuliyirirwa.
Wabula Nalumansi yayongedde nalungamya nti okugyako abo abalina ebyapa ebiri waggulu w'omwaka gwa 1996 etteeka erifuga entobazi welyateekebwa mu nkola bo baakuliyirirwa.
Bya Nelor
Comments
Post a Comment