Posts

Sijja kuziika Ssemwanga. Maama wa Zari

Image
Maama wa Zari ayogedde ku bituuse ku muwalawe nga eyali mukowe afudde nagamba nti  ab'oluganda lwa Mukowe ye gwayita mutabaniwe Ivan Ssemwanga bamutiisizza n'okuziika  kubanga bandimutuusako obulabe okusimnziira ku byawulira byebakonjera muwalawe. Okuva Ivan Ssemwanga bweyafa, ab'olugandalwe b'ogedde ebigambo bingi omuli n'okulumiriza nti Zari yeyavuddeko mutabani wabwe okufa.  Naye maama wa Zari  Hassan Harima abeera e Munyonyo wano mu Kampala bwabadde ayyogerako n'olumu ku lupapula lwamawulire mu makage  bino byonna abiwakanyizza nalaga okwennyamira ku ngeri ab'oliuganda lwa ssemwanga jeboogereramu muwalawe Zari Hassan. Agamba nti bano bayita muwalaawe malaaya era aggwamu olwebintu ekintu kyagamba nti  kibi nnyo kubanga beerabidde nti ebintu Ssemwanga byabadde nabyo baabikola babiri ne Zari era nti yagenda okumufumbirwa nga naye alina ebibye. Yayongeddeko nti balina okukimanya nti Ssemwanga buli lwabaddenga ajja mu Uganda abadde teyerabira kuyit...

Zari ayogedde, sijja kukungubagira Ssemwanga.

Image
Zari ayogedde ku kufa kw'eyali  omwamiwe Ivan Ssemwanga nategeeza nti yye tagenda kwekubagiza wabula agendanga kujaguza obulamu bwa ssemwanga bwonna. bwamaze ku nsi. Zari  bwabadde ayogerako ku ssimu emukubiddwa ngali mu kathedral e Namirembe nga basabira omwoyo gw'omugenzi  ategeezezza nti ebintu ebyenjawulo bye byabawukanya ne Ssemwanga yye nagenda mu maaso n'omusajja omulala ekintu Ssemwanga kyeyamanya  kubanga yali amanyi bulungi ki Zari kyasobola okukola era nga naye yali amanyi bulungi Ssemwanga kyeyali tasobola kukola. Zari ayongeddeko nti Ssemwanga yakimanya era namwesiga nti asobola bulungi okulabirira abaana baabwe nti era ajjakubalabirira okutuusa mukama naye lwalimujjulula. Wabula bakira Zari ayogera ku ssimu nga abakungubazi bonna bafaayo nnyo okuwulira byayogera ku ssimu. Bya Nelor

Omuyimbi Diamond Platinum agenda kujja okuziika Ivan Ssemwanga

Image
Omuyimbi Diamond Platnum ategeka kujja kuno okuziika eyali omwami wa Mukaziwe Hasan Zari ounaku lw'enkya. Diamond Platinum Muyimbi ow'erinnya era owa maanyi wano mu Africa omutanzania era nga yawasa Hassana Zari  gweyakazaalamu abaana babiri kati ,oluvannyuma lw'okwawukana mu mateeka neyali omwamiwe Nagagga Ivan Ssemwanga eyekolera ennyo erinnya mu kumansa ssente wano mu kibuga kampala mpozzi kati omugenzi era agenda okugalamizibwa ku bijja bya bajajjaabe e Kayumga mu Bugerere olunaku lw'enky. , Diamond Mu bigambo bye yategeezezza nti yanyoleddwa wamu ne mukyalawe Zari olw'okufiirwako taata wa baanabe abasatu  ababadde bakyetaagira ddala okubudaabudibwa n'okulabirirwa kitaabwe. Bbo banne ba Diamond abamu batuuse olunaku lw'eggulo  nga bamaze okuva ku kivvulu Diamond platinum  kyeyayimbiddeko e Nairobi ekyatuumiddwa Koreoge Festival era nga naye asuubirw aokubeegattako enkya  ku maziika. Bya Nelor

Ab'oluganda lwa Ivan Ssemwanga batabukidde Zari.Gwe wamusse

Image
Ab'oluganda lwa Ivan Ssemwanga baatabulkidde Zari nga bamulumiriza okuvaako okufa kwa mutabani waabwe. Olunaku lw'eggulo omulambo gwa ivan Ssemwanga gwaleeteddwa mu maka g'e Muyenga agamukuluwe  abangi gebabadde balowooza nti nago gabadde gage webasanze nga ab'oluganda nab'emikwano balinze omubirigwe bagukubeko eroiiso evannyuma olwo gutwalibwe e Kayunga jagenda okugalamizibwa olunaku lw'enkya. Ab'oluganda lw'omugenzi eno jebaalindidde  omulambo gw;omuntu waabwe naye nebawera okugajambula Zari nga bamulabyeko ku lumbe. Waayise akaseera katono ddala Zari nalabikako mu lumbe ab'oluganda lwa Ssemwanga nebaagala okumuyisaamu empi  ngfa bwebamusikaasikanya ekintu ekyatiisizza abaana be  abasatu beyazaala mu Ssemwanga  era nga baalabiddwako nga bakaaba n'okugezaako okubakomya newankubadde bali baabadde bakuylu. Ab'oluganda lwa ssemwanga nga bakulembeddwamu omukuzawe Herbert Luyimda  bagamba nti Zari yeyavuddeko embererezi yo...

Enfa ya Ivan Ssemwanga etiisizza eggwanga.

Image
Ivan Ssemwanga abadde amanyiddwa nnyo ng'omugagga omuto akulira akabinja akayitibwa "Rich Gang" abamansa ssente mu Kampala  yafudde mu kiro ekyakeesezza olunaku lw'eggulo oluvannyuma lw'okumala ennaku 13  mu kkoma  mu ddwaliro lya st Steven Biko erisangibwa mu kibuga kya Pritoria e South Africa jeyali yaweebwa  ekitanda oluvannyuma lw'okukubwa  puleesa nafuna okwekwata kw'omusaayi mu bwongo  era nalongosebwa  kyokka natasobola kusimattuka. Ssemwanaga yamanyibwa nnyo mu Uganda olw'okmansa ssente ngali wamu neyali muganziwe ebiseera ebyo  Hassan Zari kati mukyala w'omuyimbi Diamond Platinum omutanzania, buli lwebaava nga  e South Africa  nebajja mu Uganda. Ivan Wafiiridde nga bayawukana dda ne Zari gweyali yazaalamu abaana abasatu bokka era bafudde alina bokka wabula Zari bweyamanya ebyatuuka ku Ivan nalinnya ennyonyi okuva e Tanzaniya jeyafumbirwa nagenda e South Africa okujjanjaba Ivan . Omukuza wa Ivan Ssemwanga Muhammed Luyinda...

Okugya ekkomo ku myaka ja pulezidenti kyerariikirizza abawa Uganda obuyambi.

Image
Akulira oludda oluwabula gavument mu palamenti Winnie Kiiza alaajanidde bannamateeka okuva mu ggwanga elya Austria  okuwagira ba nnabyabufuzi nebibiina eby'obwa nakyewa  mu ggwanga ebivuddeyo okulemesa enteekateeka z'ekibiina ekiri mu Buyinza ekya NRM ez'okuddamu okutigatiga ssemateeka w'eggwanga. Bweyabadde ayogera n'ekibinja ekivudde mu ggwanga ly aAustralia ekirondoola obuyambi gavumenti yabwe bwewa Uganda ne yafiisi y'oludda oluvuganya mu palamnenti omubaka Winnie Kiiza akoowodde abagabirizi b'obuyambi kwossa abalwanirizi ba democrasiya mu nsi yonna okugatta  amaanyi okulemesa bannakigwanyizi bakuno okujolonga ssemateeka nga bakyusa akawaayiro namba 102 akassa ekkomo ku myaka  omukulembeze weggwanga  jalina okukoma okukulembera eggwanga lino. Bya Nelor.